OKUFA n’okufiirwa kye kimu ku bintu ebyentiisa! Tuze tukulaga ebigobererwa ng’omuntu afudde wabula nga tukulaga afiiridde ku kika kye oba waakiri ng’omukazi
afiiridde mu maka ge. Leero tutunuulidde oyo afa wabula nga tafiiridde ku kika kye.
Biki ebigobererwa mu kumuziika singa aba tazziddwa ku kika kye? Mu ngeri yeemu era tugenda kukulaga obuwangwa obulala obugobererwa omuli n’okuziraga omanye ebirina okutuukirizibwa mu buwangwa.
Alice Namuli 86, omutuuze ku kyalo Kaaso ekisangibwa mu muluka gwe Ttikkalu mu munisipaali ye Nansana mu disitulikiti ye Wakiso annyonnyodde ebigobererwa ng’omuntu atali wa kika afudde era nga tagenda kuzzibwa waabwe oluusi nga n’abatuuze tebamanyi gy’azaalwa gamba ng’abo abajjanga mu Buganda okupakasa.
AWAZIIKIBWA OMUJJWA
Namuli agamba: Omu ku bantu abataba ba kika ye Mujjwa. Ono abeera mwana wa mwannyoko nga w’afiiridde omwami waawo amuyita Kkojja.
Omuntu ekika kino bw’afa taziikibwa ku kiggya kya kika. Aziikibwa ku lusalosalo lwa kibanja. Kino kisobola okubanguyiza singa ab’ekika kye baba bamuddukidde
okumwawula amangu kw’abo ab’ekika. Si kulwa nga mu kumusengula ate mu butanwa
batwalamu mulala.
Kyokka ate oyo omuzzi obuzzi oba omupakasi ye taziikibwa ku lusalosalo, ono afunirwa ekifo ekirala ekitali kya kiggya n’aziikibwa awo.
Edda abantu ekika kino naddala abajjanga okupakasa bakama baabwe baabawanga n’ebibanja oluusi ne babawasiza n’abakazi. Oyo bwe yafanga, ng’aziikibwa
awo awaamuweebwa.
OLUBUTO OLUVUDDEMU LUFUGIKIBWA
Waliwo embeera etuukawo omukyala n’avaamu olubuto. Ssinga embeera eno eba etuuseewo ‘omwana’ oyo aba avuddemu, abakyala abakulu babaako obugoye mwe bamuzinga ne bamufugika mu kitooke. Kyokka okufugika kulina okukolebwa obulungi ‘embwa’ ne zirema okumuziikulayo.
OKUZIIKA ALINA EKIFUNDIKWA
Waliwo n’omuntu okufa wabula ng’alina ekifundikwa. Okugeza nga mwana muto naye
ng’alina gwe yasikira. Ono mu kumuziika tayisibwa nga mwana muto, aba muntu mukulu era bamwabiza n’olumbe. Sso nga jjukira nti omwana omuto wano mu Buganda tebamwabiza lumbe.
Naye ono olw’okuba abeera aliko gwe yasikira, abeera afuuse muntu mukulu kye bava ye bamwabiza olumbe.
ATAZADDE
Enkola eyakolebwanga edda nti afudde nga tazadde kyokka ng’emyaka gye egy’okuzaala gyatuuka, ng’ayisibwa mmanju erabika nga etekyakola. Ensangi zino si kyangu kuyisa muntu mmanju. Kyokka ekigendererwa ky’enkola eno kikyaliwo. Kya
makulu emyaka gy’okuzaala bw’oba ng’ogituusizza ozaale kubanga bw’otazaala ate
ng’abantu balina okufa ekika kyo kiyinza okuggwaawo. Kwe kugamba akalombolombo kano kaakolebwanga okulaga abantu nti kirungi bw’otuuka mu myaka egizaala, ozaale omulambo gwo guleme kuswala nga baguyisa emmanju.