Amawulire

Abadde avvoola Kabaka bamukutte n'awoloma

OMUVUBUKA Ibrahim Musana 27, abadde agifudde enkola okuvvoola Ssaabasajja Kabaka akwatiddwa poliisi n’aggalirwa.

Abadde avvoola Kabaka bamukutte n'awoloma
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUVUBUKA Ibrahim Musana 27, abadde agifudde enkola okuvvoola Ssaabasajja Kabaka akwatiddwa poliisi n’aggalirwa.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwatibwa kwa Musana n’agamba nti yakwatiddwa ku Lwomukaaga okuva e Kisaasi nga mu kiseera kino akuumirwa ku poliisi ya Kira Road.

Yagambye nti Musana abadde agifudde nkola okweyambisa emikutu gya kompyuta egyenjawulo n’avvoola abantu ab’enjawulo.

Mu kiseera kino bambega ba poliisi bakyakuhhaanya obujulizi obumulumiriza n’oluvannyuma alyoke aggulweko emisango egyenjawulo. Obwakabaka bwa Buganda bulabudde ababuvvoola n’okuyisa mu Namulondo olugaayu nga bwe batagenda kuddamu kubagumiikiriza.

Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe Kitooke yasinzidde ku mukolo gw’okutuuza ow’omuluka gwa Mmengo, Mariam Nansamba n’avumirira enkozesa embi ey’emitimbagano abantu kwe basinziira ne boogera ebitasaanye.

“Omuntu yenna anaddayo okwepampalika ku Nnamulondo, tulina ofiisi ya Ssaabawolereza egenda okusitukira mu muntu oyo. Twakitandikako dda era waliwo looya eyavaayo ne yeekangabiriza ne tumumegga mu kkooti. Waliwo n’omulangira gwe twakamegga. Bonna tujja kubamegga nga tukozesa amateeka,” Kazibwe bwe yagambye.

Tags:
Kabaka Mutebi