Amawulire

By’olina okukola okuba n’obulamu obw’omuwendo

Buli muntu yenna eyatondebwa Katonda alina okumanya nti obulamu bwe bwa muwendo era bwa kitiibwa ng’omuwendo guno ggwe ng’omuntu olina okugweteekako ng’abantu abalala tebannagukuteekako era n’ekitiibwa ggwe alina okusooka okukyewa okuyita mu bikolwa byo okuli engeri gy’oyogeramu eri abantu abalala, gy’otambulamu, ennyambala yo, endya yo ne mu neeyisayo mu bulamu bwo bwonna

Enos Kagodo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Buli muntu yenna eyatondebwa Katonda alina okumanya nti obulamu bwe bwa muwendo era bwa kitiibwa ng’omuwendo guno ggwe ng’omuntu olina okugweteekako ng’abantu abalala tebannagukuteekako era n’ekitiibwa ggwe alina okusooka okukyewa okuyita mu bikolwa byo okuli engeri gy’oyogeramu eri abantu abalala, gy’otambulamu, ennyambala yo, endya yo ne mu neeyisayo mu bulamu bwo bwonna.
Tuzaalibwa mu maka ag’enjawulo era ne tukuzibwa wabula abantu be tubeera nabo naddala abatukuza ne mikwano gyaffe be tusisinkana balina engeri gye bakyusaamu enneeyisa yaffe ey’enjawulo mu ngeri nnyingi. Okugeza bwe babeera balina emize naffe tutandika okweyisa nga bbo ne tukola emize egyo ate bwe babeera n’empisa era naffe tubeera n’empisa era Omuganda ky’ava agamba nti mbuulira gw’oyita naye
nkubuulire empisa zo.
ENGERI EMIKWANO BWE GIWABYA
Nali mwana wa mpisa wabula bwe natuuka mu siniya emyaka gyatandika okupagga. Sitaani yampa emikwano egyampabya Engeri gyennali omusabi w’omupiira emikwano gyampaga.
Nze ndi muwagizi wa Machester United, Express awamu n’ekika kyange eky’Engeye. Omu ku mikwano gyange yanjigiriza okunywa omwenge kubanga baagutundanga awaka ne bafuna ssente. Nafuuka ekitagasa nze gwe baali bayita omwana wa Mami
ekiseera kyatuuka ne neewaayo okufa.
OKULOKOKA KWAKYUSA OBULAMU BWANGE
Ekyewuunyisa nali mukulembeze w’abavubuka mu kkanisa era buli lwa Ssande nagendanga ku kkanisa wabula abannonda ku kifo kino baasinziira ku nneeyisa yan famire yange. Mu 1995 nasalawo okulokoka oluvannyuma lw’okwefumiitiriza enjiri gye
baabuulira mu lukuhhaana lw’abakulembeze b’abavubuka. Mu biseera ekyo essuubi lyali lyanzigwamu era ne mmange yali yaggwaamu essuubi kuba nali nfuuse ekiteetaagisa munsi.
Bwe nalokoka obulamu bwakyuka,Yesu yamponya okufa, omwenge naguvaako era enjiri eyambuulirwa ye yanfuula kyendi ne mu kaseera kano.