Owa ICC asisinkanye Museveni ku bya Kony

Feb 27, 2024

KKOOTI y’ensi yonna esazeewo etandike okuwozesa kyewaggula Joseph Kony wadde tannakwatibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

KKOOTI y’ensi yonna esazeewo etandike okuwozesa kyewaggula Joseph Kony wadde tannakwatibwa.

Omuwaabi wa kkooti y’ensi yonna eya International Criminal Court (ICC), Karim A.A. Khan KC bwe yabadde tannatuuka mu Uganda okusisinkana Pulezidenti Museveni, yasoose kufulumya kiwandiiko ekiraga Kony akulira abayeekra aba LRA bw’agenda okutandika okuwozesebwa kuba okunoonyereza ku misango gy’azze azza ng’alwana okugyako Gavumenti ng’akozesa emmundu kuwedde.

Karim agamba nti mu July wa 2004, yafuna okusaba kwa Gavumenti ya Uganda okunoonyereza ku bya Kony era ofiisi ye kwe kutandika okunoonyereza ku byali bigenda mu maaso naddala ebyokutulugunya abantu ebyakolebwa Kony n’abayeekera b’ekibiina kye ekya Lord’s Resistance Army (LRA).

Ebyasooka okuva mu kunoonyereza kwe kwava okuyisa ebibaluwa bi bakuntumye eby’abantu bano wammanga; Raska Lukwiya, Okot Odhiambo, Vincent Otti, Dominic Ongwen ne Kony abaali ba kamanda abakulu mu LRA. Kyokka ebyokuwozesa Lukwiya, Odhiambo ne Otti baabivaako bwe kyakakasibwa nti battibwa.

Dominic Ongwen yakwatibwa n’avunaanibwa emisango 61 era mu 2021 emisango gyamukka mu vvi n’asibwa emyaka 25. Wadde okunoonyereza kwakomekkerezeddwa, ICC yasabye buli asobola okukwata Kony akikole ate nga n’abalina obujulizi obulala basobola okubuwaayo wadde nga bo bwe balina essaawa eno bumala kkooti okutandika okuwulira emisango gya Kony.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});