Kampala Mukadde efulumizza ebibuuzo by’Obusiraamu Mufti n’alabula ku njawukana
Jan 14, 2025
ABAYIZI 6,532 abaakola ebibuuzo by’Obusiraamu eby’e Kampala Mukadde bajaganya bwe babiyitidde waggulu omumyuka wa Mufti Sheikh Muhammad Ali Waiswa n’alabula abassaawo enjawukana mu Basiraamu nti bakola nsobi.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAYIZI 6,532 abaakola ebibuuzo by’Obusiraamu eby’e Kampala Mukadde bajaganya bwe babiyitidde waggulu omumyuka wa Mufti Sheikh Muhammad Ali Waiswa n’alabula abassaawo enjawukana mu Basiraamu nti bakola nsobi.
Yagambye nti buli mwaka, amasomero amapya geeyongerako okutuuza abayizi ebibuuzo by’e Kampala Mukadde. Omwaka oguwedde, abayizi 1,041 be beeyongeddeko n’amasomero 80 okusinga ku mwaka 2023.
Abalenzi 2,900 be baayitidde mu ddaala erisooka ate abawala baabadde 1,917. Abalenzi 520, baayitidde mu ddaala lyakubiri ate abawala 587.
Omuwaandiisi w’olukiiko olufuga ebibuuzo bino, Sheikh Ismail Kazibwe ebyavudde mu bibuuzo bino yabyanjulidde Sheikh Waiswa, Ssaabawandiisi wa Uganda Muslim Supreme Council, Sheikh Abbasi Mulubya Ssekyanzi ne Ali Aruma ssaako Sheikh Amir Katudde n’abalala.
Sheikh Waiswa yasiimye abayizi 10 abaasinze mu ggwanga n’amasomero mwe baavudde n’ategeeza nti kyakulabirako kirungi eri abakyali mu bibiina ebya wansi. Abasinze kuliko Achid Abdulrahman (Ibun Hamis Islamic P/S), Sudaisi Abdu Noor ne Petrekede Swabur aba Alfurqan P/S, Umaama Ahmed Ssenkungu ne Hafswa Nambirige aba Lufuka Islamic P/S, Hawa Kanyago owa Hudah Nursery and P/S , Rahamata Mugerwa okuva mu Omar Ibn Khatab Islamic Centre. Ashraf Mafabi owa Marhamah Junior Bukhali Kasozi okuva mu Sumayya International School n’abalala.
Sheikh Kazibwe yagambye nti amasomero mangi mu ggwanga gakola ebibuuzo bya Kampala Mukadde era agaasinze gaavudde Mbale n’agattako nti abazadde bongedde okutegeera ebirungi by’okutuuza abayizi ebibuuzo bino
No Comment