Abasuubuzi b'embaawo beekengedde ku muliro ogwokya emmaali yaabwe

May 02, 2025

Abasuubuzi b’embaawo mu Ndeeba beekengedde nti, wandibaawo ayagala okubasengula mu kifo, nga y’ensonga eviirako omuliro oguzzenga gubookya awatali ayamba. 

NewVision Reporter
@NewVision

Abasuubuzi b’embaawo mu Ndeeba beekengedde nti, wandibaawo ayagala okubasengula mu kifo, nga y’ensonga eviirako omuliro oguzzenga gubookya awatali ayamba. 

Omuliro gwakutte ebibanda by’embaawo mu Ndeeba mu kiro ekyakeesezza Ssande, emmaali ya buwumbi n’esaanawo. Abasuubuzi bagamba nti guno mulundi gwa 10 ng’embaawo zaabwe zikwata omuliro ne beekengera nti wandibaawo abagagga abeegwanyiza ekifo kino, ng’omuliro gukumwa mu bugenderevu beekyawe baveewo.

 

Ssentebe w’abasuubuzi b’embaawo mu Ndeeba, Meddie Kabareebe yagambye nti ekituufu ku muliro ogukwata ekifo kyabwe tebakimanyi.

Yagambye nti ekifo kino kirina balandiroodi abasoba mu munaana abalinako ebyapa ate
ng’abalala balinako endagaano nga kiba kizibu bonna okwekobaana ne bayokya emmaali y’abasuubuzi.

Yagambye nti, ekitundu ekyayidde ku mulundi guno kiri mu ttaka lya ggaali y’omukka. Yagasseeko nti mu biseera bya Jenifer Musisi, KCCA yayagala okubaggyawo babafunire ekifo ekirala naye byakoma awo. Yagambye nti ekirala tebafunanga ku lipoota yonna ku muliro guno. 

Eggulo, Loodi meeya Erias Lukwago yalambudde abasuubuzi bano n’ekifo ekyayidde n’abawa amagezi okunoonyereza bamanyire ddala ensibuko y’omuliro oguzze gukwata ebibanda byabwe eby’embaawo.

Yabagambye nti balina okutunula n’eriiso ejjogi baleme kubitwala nga bya lubalaato kubanga ne mu katale ka Paaka yaadi bwe bityo bwe byatandika, gye byaggweera ng’akatale omugagga Ham Kiggundu akatutte.

Yagasseeko nti; Ndeeba ye ddipo y'embaawo mu ggwanga, mulina okumanya nti eno bizinensi nkulu nnyo mu ggwanga, waliwo abanene abalaba nti ebakolera, baleeta embawo zaabwe naye akatale kamanyiddwa mu
Ndeeba wokka, ekitegeeza nti baba tebakola.

Lukwago yabawadde obukadde 2 bubayambeko okubaako bye beeteereezaamu okuzzaawo ebifo byabwe, n’asaba ofiisi ya Katikkiro w’eggwanga evunaanyizibwa ku bigwa tebiraze okuvaayo ekwasize ku basuubuzi
bano.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});