Etteeka eppya ery'okuwa ab'emirimu gy'omu mutwe pamiti lyeraliikirizza abagikola
Mar 12, 2025
ABAKOLA emirimu egy'omu mutwe omuli bamakanika ab'engeri zonna, ababazzi, abakola mu saaluuni, abazimbi, eby'amasannyalaze, ab'ebirabo by'emmere n'abalala balaze okutya ku tteeka erigenderedde okulung'amya emirimu gyabwe Gavumenti ly'eneetera okuteeka mu nkola.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKOLA emirimu egy'omu mutwe omuli bamakanika ab'engeri zonna, ababazzi, abakola mu saaluuni, abazimbi, eby'amasannyalaze, ab'ebirabo by'emmere n'abalala balaze okutya ku tteeka erigenderedde okulung'amya emirimu gyabwe Gavumenti ly'eneetera okuteeka mu nkola.
Etteeka erisuza bano nga bakukunadde nga lumonde mu kikata lye lya Technical and Vocational Education and Trianing (TVET) Act 2025, Pulezidenti Yoweri Museveni lye yassaako omukono ku ntandikwa ya 2025 era ne likubibwa mu kyapa kya Gavumenti ekya Uganda Gazette nga February 28, 2025 nga lya kutandika okussibwa mu nkola omwaka guno.
Naava omufumbi w'emmere ng'annyonnyola.
Etteeka lino ligamba nti buli akola omulimu ogw'omu mutwe abamu gye bayita egy'ebyemikono nga be tumenye waggulu n'abalala, Gavumenti yaakuyita mu tteeka lino okutandika okubalung'amya ng'erina y'okubawa olukusa olusasulire okukkirizibwa okukola awatali ekyo buli anaakwatibwa nga talina lukusa luno kaakumujjuutuka.
Kino kyakukolebwa olukiiko olukulu olutwala ebyemikono olwatuumiddwa TVET Council olunaalung'amyanga n'okugaba olukusa olw'omuntu okukola emirimu gino ssaako okuyita mu tteeka lino okubonereza abo abanaaba tebagondedde tteeka kye ligamba.
Etteeka lino lirambika nti oyo akuguse mu kukola omulimu gw'ebyemikono n'oyo agubaddemu nga talina lukusa, olukusa olumukkiriza okugukola anaaluggyanga mu TVET nga ssinga linaatandika okuluma oli n'asangibwa
ng'akola taweereddwa lukusa oba pamiti, anaaweesebwanga engassi ya bukadde 6, okusibwa ebbanga eritasukka myaka etaano (5) oba byombi.
Abaweesa kkeesi e Nakawa nabo libakwatako.
ABALI MU BY'EMIKONO BYE BANNYONNYODDE
Joseph Musinguzi: Omubazzi ku First Street mu Industrial Area mu Kampala yagambye nti etteeka lino lyandijja n'okusoomoozebwa okw'okukanda abantu ssente ze batalina okubawa layisinsi. Yagambye nti embeera y'ebyenfuna nkalubo nnyo ennaku zino nga ne bakasitoma baakendeera ate ng'ebintu bye bakozesa naddala embaawo bya bbeeyi.
Kyokka ku ludda olulala Musinguzi agamba nti kyandibayambako okutereeza omulimu gw'obubazzi nga baggyamu abantu abatalina bukugu ababaddenga babba bakasitoma baabwe ne babavumaganya n'okutunda ebintu ku bbeeyi ddondolo.
Regina Kibalama: Omutandisi wa Gina Hair Store and Beauty Clinic e Bulenga yagambye nti ye ng'ali mu bya saaluuni eby'okunoonya layisinsi eno bya kubatwalira obudde ne ssente eri abantu abatandika obutandisi ng'abayizi abaakava mu matendekero so nga n'ekibonerezo eky'obukadde omukaaga kikakali nnyo ekisaana okukkakkanyaako.
Kyokka agamba nti pamiti eno yandyanguyiza abazifunye okufuna emirimu nga bwe bukakafu nti bakugu abatendekeddwa era abategeera kye bakola.
Abasiba Enviiri Nabo Balina Okufuna Layisinsi
Sarah Naava: omufumbi w'emmere ku First Street mu Industrial Area mu Kampala yagambye nti etteeka erizze n'olukusa olusasulire ligenda kubanyigiriza kubanga embeera y'ebyenfuna nzibu nnyo mu kiseera kino.
“Abantu tebakyalina ssente era bangi tubawa emmere ne batatusasula ate ng'abalala baagala ya bbanja. Kati nze omuntu akozesa abannyambako nga nabo balina okusasulwa nnasobola ntya okuyimirizaawo bizinensi ng'ate ne Gavumenti enteeze okunsasuza pamiti?” Naava bwe yeebuuzizza.
Yagambye nti ne we bali babaddeko ebintu bye basasula ebibamenya ennyo ng'okusasula ekifo, amazzi, amasannyalaze n'ebirala ng'okuyimirizaawo ekirabo kye eky'emmere kubeera kutetenkanya nnyo.
Musinguzi Jafesa Kulundu: Nnanyini kkampuni ya Surph Engineering Company abakanika zi Air Conditioner ne firiigi e Ntinda yagambye nti etteeka lino ke lyamaze okuyita mu Palamenti ne Pulezidenti n'alissaako omukono olwo ye ng'omutuuze aba alina kulinda kijja akigondere kubanga talina kye yamanyaako mu kulikola newankubadde ebyakolebwa byali bikwata ku bizinensi okuli n'eyiye.
Bob Ssekasamba, omuweesi wa ssanduuke z'oku ssomero e Nakawa yagambye nti bye bakola wadde mulimu gwa byamikono naye be bagwetendeka era ne bagwetonderawo ne yeewuunya Gavumenti gy'egenda okuggya
obuvumu okubalagira nti bamale kugula lukusa okugubakkiriza okugukola!
Ono eyeegattiddwaako munne Emmanuel Kayemba baasabye Gavumenti efeeyo okuwagira emirimu gy'ebyemikono kubanga gye gisitudde ensi nga China so si okubanyigiriza ng'ate be beerandizza bokka.
MINISITULE ERAZE EKIDDAKO
Omumyuka wa kamisona avunaanyizibwa ku mateeka mu Minisitule y'ebyenjigiriza, Brighton Barugahare yategeezezza New Vision nti nga bamaze okukola ekiwandiiko ekinaalung'amya byonna ebiri mu tteeka lino, baakutondawo olukiiko lwa TVET Council olunaddukanya byonna etteeka bye liragira.
Mu bujjuvu emirimu egiri wansi w'etteeka lino kuliko abazimbi, abafumba emmere n'abagiweereza, bamakanika ab'engeri zonna, abakola juyisi, ababazzi, abatunzi abeebyalaani, abakola engatto, abakola make-up, aba ssaaluuni
n'abalala.
No Comment