By'olina okumanya ng'ozimba ennyumba y'enkoko eya kkalina
Apr 21, 2025
KU wiikendi, twakulaze ebikulu by’olina okwegendereza ng’ozimba ennyumba y’enkoko omwabadde; entambula y’omusana n’empewo, obugazi n’ebirala, okusobola okufuna ennyumba egenda okuwa enkoko mirembe n’okukula obulungi.

NewVision Reporter
@NewVision
KU wiikendi, twakulaze ebikulu by’olina okwegendereza ng’ozimba ennyumba y’enkoko omwabadde; entambula y’omusana n’empewo, obugazi n’ebirala, okusobola okufuna ennyumba egenda okuwa enkoko mirembe n’okukula obulungi.
Leero Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu kulunda enkoko era dayirekita
wa Agrarian systems e Wakaliga-Nateete, ate minisita wa Kabaka ow’emizannyo
n abavubuka, akulaga ebirala by’olina okutunuulira ng’ozimba ennyumba ku ffaamu.
KALINA Ng’ozimbye ennyumba za kalina, weetaaga okutunuulira
ebintu eby’enjawulo, kubaemirundi egisinga ennyumba eri waggulu enkoko zaamu tezikola bulungi, kuba obwetaavu busukka ku nkoko eziri wansi.
Okugeza entwala y’amazzi, emmere, okuggyayo kalimbwe, amagi ate n’embeera y’obudde ekyuka. Era singa osobola wandibadde weewala okugenda mu kalina, waakiri n’olundira mu katimba.
Weetaaga omukugu okukulambika mu nteekateeka y’okulundira mu kalina.
EBIZIMBE EBIRALA Waliwo ebizimbe ebirala bye weetaaga, okugeza; singa enkoko zirwala, kirungi n’omanya w’ogenda okussa enkoko nga bw’ejjanjabibwa. Ekkulizo
(bbuluuda), sitoowa y’emmere n’amagi n’ebirala. Era okuva ku nnyumba emu okudda ku
BY’OLINA OKUMANYA NG’OZIMBA ENNYUMBA Y’ENKOKO EYA KALINA
Mmande April 21, 2025 Bukedde 13 ndala wandibaddewo ffuuti 12, okwewala ebiva mu nnyumba emu ng’obulwadde okudda mu ndala.
EBIGENDA MU NNYUMBA
Ennyumba yeetaagamu ekitangaala, ebiriiro, ebinyweeroobukuta okuli; obw’emmwaanyi, obw’omuceere n’embaawo. Mulimu n’ennunda ez’enjawulo g’obutimba, nga kikwetaagisa okumanya engeri gy’ogenda okukola obulungi.
Obungi bw’enkoko z’osobola okulundira mu nnyumba emu, bwawukana okusinziira ku kika ky’enkoko gamba ez’amagi, ez’ennyama, ennansi, maleeto (kuloyira), n’enkola gy’ogenda okulundiramu gamba ng’akatimba oba eza wansi.
Bw’obeera ogenda kulundira mu nnyumba abadde ey’abantu oba galagi, weetaaga okwebuuza ku mukugu kuba waliwo ebirina okukyusibwa okusobola okuwa enkoko empewo emala, okukendeeza ekibugumu n’ebirala olwo osobole okuzifunamu. Wadde singa obeera togoberedde byogeddwa waggulu enkoko ziyinza obutafa, naye
enkola yaazo mu nkula bwe zibeera za nnyama oba embiika y’amagi bikendeera, ekikendeeza ennyingiza n’amagoba ge wandikoze okuva mu ddundiro lyo. Uganda ekyalina okusoomoozebwa mu bulunzi n’obulimi okw’abakugu mu bintu ebitali bimu, ng’okuzimba ebizimbe ku ffaamu, okukanika ebyuma bya ffaamu n’ebirala.
Wabula omuntu agenda okufuna mu bulunzi nga bizinensi, weetaaga omukugu okukuluhhamya ku ky’ogenda okukola n’engeri gy’oteekeddwa okukikolamu
No Comment