Omuliro gusaanyizzaawo ekkolero e Kasangati ebintu bya bukadde ne byonooneka
May 01, 2025
POLIISI ezikiriza omuliro eyitiddwa bukubirire oluvannyuma lw'omuliro okukwata ekiyumba ky'amabaati awakolerwa ebitabo bya Blackbook e Kasangati Ku Mayiro Mwenda.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI ezikiriza omuliro eyitiddwa bukubirire oluvannyuma lw'omuliro okukwata ekiyumba ky'amabaati awakolerwa ebitabo bya Blackbook e Kasangati Ku Mayiro Mwenda.
Kimotoka ekizikiriza omuliro nga kisimbye ku bbali okutaasa embeera.
Omuliro kigambibwa nti guvudde ku masannyalaze awabadde wateereddwa Leediyo ebaluse omulundi gumu.
Poliisi ng’ekulembeddwa DPC wa Kasangati Moses Musinguzi eyitiddwa Bukubirire n’etuuka we gubadde n’etandika okulwanagana nagwo okutuusa lwe guzikidde.
Tewabaddeewo afunye buzibu bwonna mu muliro guno.
Related Articles
No Comment