Abagambibwa okuba ababbi b'ebijambiya basimatukidde watono okuttibwa

May 01, 2025

Abavubuka babiri abagambibwa okuba mu kibinja ky'ababbi abeebijambiya, bawonedde watono okuttibwa bwe babakubye ne babaleka mu kkoma.

NewVision Reporter
@NewVision

Abavubuka babiri abagambibwa okuba mu kibinja ky'ababbi abeebijambiya, bawonedde watono okuttibwa bwe babakubye ne babaleka mu kkoma.

Bino bibadde Kitemu ku dduuka lya Fortebet mu Kyengera town Council, ababbi abeebijambiya abawera nga musanvu  bwe bakutte abakozi n'omuserikale ne babasiba emiguwa ne babba mu kiro ekikeesezza leero.

Kigambibwa nti waliwo omu ku bakaasitooma George Nkesigga abaguddemu, naye ne bamusiba emiguwa nti kyokka mu kanyoolagano n'akubako omu akatebe abalala ne bafubutuka ne badduka.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti basobodde okunywezaako babiri ne babakuba kyokka poliisi ebawonyezza ne batwalibwa mu kalwaliro ka BSK medical centre, okufuna obujjanjabi  nga poliisi e Nsangi , bw'ebakunya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});