Obubonero obulaga emmotoka enywedde amafuta amakyamu

ENSANGI zino mu mbeera y’ebyenfuna eyeekanamye buli muntu afuba nga bwasobola obutasaasaanya ssente zisukkiridde.

Obubonero obulaga emmotoka enywedde amafuta amakyamu
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mafuta #Obubonero #Kunywa #Amafuta

ENSANGI zino mu mbeera y’ebyenfuna eyeekanamye buli muntu afuba nga bwasobola obutasaasaanya ssente zisukkiridde.

Embeera eno evuddeko abemmotoka abamu okunoonya amafuta aga layisi so nga beesombera bizibu kuba oluusi gabeera tekatuuka ku mutindo gusaanidde.

 

Mulimu baddereeva abatamanyi kwawula mmotoka enywedde amafuta amakyamu. Musa Kiwanuka, makanika w’emmotoka okuva mu Ndeeba agamba nti waliwo ebintu kw’oyinza okulabira nti emmotoka yo enywa amafuta makyamu:

l Okukololakolola kw’emmotoka kye kimu ku biraga nti onywedde amafuta amakyamu. “Ssinga emmotoka yo bulijjo tebadde na mize gikolola naye n’omala okunywa amafuta ku ssundiro n’etandika okukolola ng’ovuzeeko akabanga manya nti onywedde amafuta makyamu.

lEmmotoka obutalinnya lusozi. Emmotoka bw’eba nnamu bulungi n’onywa amafuta amakyamu, esala sipiidi, ogenda okutuuka ku kasozi ng’olina kuteekamu ggiya ey’amaanyi okukalinnya sso nga bulijjo obadde okayitako ne ggiya ennafu.

lEmmotoka yonna ssinga enywa amafuta amakyamu omuli agagattiddwaamu amafuta g’ettaala oba ebiragalalagala etandika okupipira nga bw’esikondoka. Kino kigimalamu amaanyi kuba yingini eba enuusa ebintu by’eterina kunuusa olwo nga weetaaga kwoza yingini.

lOkufuuwa ekikka ekiddugavu, naddala mu mmotoka eza petulooli oluusi kiraga nti amafuta tewafunye malungi.

lMu mmotoka ezimu, bw’ogiwa amafuta amakyamu egaana okukuba serefu. Emmotoka ezimu ezikoleddwa ennaku zino naddala ez’amasannyalaze, ziba za ntondo nga, tezaagala mafuta majama era oluusi zigaanira ddala okwaka.

l Endala yingini ezibikira, n’esirika lumu.