Lukwago agumizza abakolera mu katale k'e Nateete
May 01, 2025
Lukwago akakkanyizza emitima gy’abasuubuzi mu katale k’e Nateete n’abategeeza nti tewali ayinza kubagobamu kubanga ka KCCA.

NewVision Reporter
@NewVision
Lukwago akakkanyizza emitima gy’abasuubuzi mu katale k’e Nateete n’abategeeza nti tewali ayinza kubagobamu kubanga ka KCCA.
Lukwago yagenze mu katale kano eggulo ku Lwokusatu ng’ali n’abakungu okuva mu KCCA ne batuuza olukiiko olwetabiddwaamu abasuubuzi abakolera mu katale kano meeya w’e Lubaga, Zachy Mberaze Mawula, ne bakkansala.
Mu bbaluwa ssentebe w’akatale Bonny Kabugo ze yawaddeko Loodi Mmeeya Lukwago zaabadde ziraga nti ssinga tebayambibwa, omugagga yandibakubako ekibaati.
Lukwago, yakubidde Shaka essimu n’amutegeeza nti ensonga ze ez’okumuliyirira zibadde zitambula bulungi ne yeebuuza ate lwaki atawaanya abasuubuzi.
Lukwago yabagambye nti Gavumenti bwe yeddiza obutale bwonna mu Kampala, ebyabagagga abagambibwa okubugula bagobemu abasubuzi ba mufuna mpola tebikyasoboka.
Wabula Shaka yategeezezza Lukwago nti yagezaako okugoba ebintu byonna mu mateeka naye ate KCCA temuyambye ne ofiisi ez’enjawulo nga y’ensonga lwaki ayagala yeddize ettaka lye.
Oluvannyuma Lukwago yamugambye nti dayirekita wa Kampala agenda kumuwandiikira amuyite bawulirize ensonga ze kubanga byagamba nti azze afiirwa ssente ze, nti ne KCCA yateekamu ensimbi ezaayo ezisoba mu bukadde 200 .
Mberaze yalabudde abaagala okutaataaganya abasuubuzi nti bwe wabeerawo ensonga bazitwaale mu KCCA kubanga ako katale ka KCCA.
Akatale kano kasooka kuba ka mutaka Ali Nsimbi kyokka n’akagabako liizi ya myaaka 99 mu 1964 ng’agiwa Mmengo munisipaali oluvannyuma ne kadda mu KCCA era liizi esuubirwa okugwaako mu 2063.
Kigambibwa nti ebiwandiiko byatabukira mu KCCA ebyapa ne bibulankana era byagenda okuvaayo nga baabisinga mu bbanka oluvannyuma eyalanga ettaka eryo kwe katudde omugagga n’akagula.
No Comment