Pulezidenti asisinkanye abakulembeze b’Abasodookisi mu ggwanga
May 01, 2025
PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abamu ku bakulembeze ba Orthodox Church mu Uganda n’abasaba okukolaganira awamu n’enzikiriza endala.

NewVision Reporter
@NewVision
PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abamu ku bakulembeze ba Orthodox Church mu Uganda n’abasaba okukolaganira awamu n’enzikiriza endala.
Ensisinkano eno yabadde mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero n’ekigendererwa ky’okujaguza nga bwe giweze emyaka 25 bukya nzikiriza eno ejja mu Uganda.
Museveni Ng'ali N'abamu Ku Bakulira Enzikiriza Y'abasoddookisi Mu Ggwanga.
Ambasaba wa Ethiopia mu Uganda, Etsegenet Bezabih Yimenu yeebazizza Pulezidenti Museveni olwokubakkiriza okwetaayiza mu Uganda awatali abakuba ku nsolobotto.
Yagambye nti bajja kusigala nga bakuuma emirembe, obumu awamu n’okutuusa obuweereza obulala obukulaakulanya eggwanga.
Museveni yategeezezza abagenyi be nga Uganda bw’erina omutima gwa Africa ogwaniriza buli muntu ajja okukolera mu ggwanga.
“Uganda ejja kusigala nga maka ga bantu bonna abava ku lukalu lwa Africa, kasita babeera beetegefu okussa ekitiibwa mu mateeka agali mu ggwanga nga balina enkulaalakulana gye baleeta.
Mbasaba mwewale enjawukana z’amadiini mukolagane n’abantu b’enzikiriza endala” Museveni bwe yabuuliridde.
Yagambye nti bagumiikiriza omuntu yenna kasita tabeera mumenyi wa mateeka, kuba kibeera kikyamu okwefuula ayagala ennyo Katonda ng’ate olwanyisa enzikiriza endala.
Olukiiko lwakomekkerezeddwa nga buli ludda lusuubizza okukolera awamu mu nkukaakulana y’ebitundu, enzikiriza enjawulo n’abantu ba Africa bonna okubakulaakulanya.
No Comment