Abasodokisi balangiridde olutalo ku bwavu, enguzi n'obutasoma

Apr 17, 2023

Abakulembeze b’Abasodokisi mu Klesia ya ‘Genuine Orthodox Church’ balangiridde olutalo ku nguzi n’okutumbula eby’efuna ne bagamba nti bino bye bimu ku bijja okutwala eggwanga lino mu maaso.

NewVision Reporter
@NewVision

Abakulembeze b’Abasodokisi mu Klesia ya ‘Genuine Orthodox Church’ balangiridde olutalo ku nguzi n’okutumbula ebyefunne bagamba nti bino bye bimu ku bijja okutwala eggwanga lino mu maaso.

Ssaabasumba w’Eklesia eno Nektorios Vlydka, yagambye nti bino bye bimu ku biremesezza ebitundu ebimu okukulaakulana kubanga abantu tebafuna buweereza bwe balina kufuna.

Yayongeddeko nti wakati nga balwanyisa obwavu n’enguzi, bagenda kufuba nnyo okutumbula ebyenjigiriza naddala buli awali Ekelesia yaabwe.

Yabadde ku Kelesia Luttiko eya Genuine Orthodox e Kawanga mu ggombolola ye Malangala mu Mityana, mu mmisa eyokukuza Paasika ku Ssande.

Ssaabasumba yakunze abakkiriza okwenyigira mu bikolwa ebirungi naddala ebitwala eggwanga mu maaso. Yalabudde abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okwewala ebikolwa ebibatyoboola nokutyoboola eggwanga.

Yanokoddeyo Baminisita abagambibwa okubba amabaati g’e Karamoja n’agamba nti ensonga zino zirina okukwatibwa nobwegendereza, kubanga ziswaza eggwanga.

Ssentebe weggombolola ye Malangala, Atanus Busuulwa eyakulembeddemu abatuuze basiimye Kelesia olwebyo byekoze mu kitundu ne basaba gavumenti okubakwatizaako.

Yagambye nti enkulaakulana batandise okugiraba naye beetaaga ebintu ng’amasannyalaze, enguuzi namazzi, okukolebwako mu bwangu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});