Abantu be Kalangala bafunye obujjanjabi obw'obwereere

Aug 26, 2022

BannaKalangala okuli n'abali mu makomera abasuka mu 1200 bafunye obujjanjabi obwenjawulo mu lisisira olumaze ennaku ssatu olukoleddwa mu bitundu ebyebjawulo. Olusiisira luno luwomeddwamu omutwe aba Coptic Orthodox Church nga bali wamu naba Life with Purpose era bubadde bwabwerere

NewVision Reporter
@NewVision

BannaKalangala okuli n'abali mu makomera abasuka mu 1200 bafunye obujjanjabi obwenjawulo mu lisisira olumaze ennaku ssatu olukoleddwa mu bitundu ebyebjawulo. Olusiisira luno luwomeddwamu omutwe aba Coptic Orthodox Church nga bali wamu naba Life with Purpose era bubadde bwabwerere. 

Mu bujanjabi obuwereddwayo mubaddemu okukuula amannyo, okujjanja endwadde zekikaba, omusujja, amaaso, endwadde z'amatu n'endala nnyingi. 

Nga 2

Nga 2

Father Raphael Reda akulembeddemu olusiisira luno atutegeezezza nti bakola mulimu gwa Katonda ogwokuwonya abantu endwadde ez'omwooyo saako n'omubiri.

"Twagala okulaba nti abantu ba Katonda babeera mu bulamu obweyagaza omutali ndwadde naddala eno mu bizinga kubanga tumanyi nti obulwadde buba bunji mu bantu baffe," Reda bwategezezza. 

Dr. Christina.S.Ragheb okuva mu Egypt agamba nti babadde bagala okukola ku bantu 2000 kyokka olwentambula enzibu ey'okumazi tebasobodde kutuuka ku bizinga birala era basubira nti luno sirwerusisira olukomekereza era bakugenda mu maaso nendala nnyinji. 

Nga 9

Nga 9

Javiira Kimanywamugezi omu kubafunye obujjanjabi asiimye olw'enteekateka eno nategeza nga bwebabadde batafunangako lusisira lufananako bweruti omubadde okuweebwa neddagala eryendwadde eziba zikebereddwa. 

"Tusaba Gavumenti eyongere amanyi mu nsisira zino kubanga zezijja okuyamba bana Kalangala abali ku bizinga okutali malwaliro," Javiira bwayongeddeko.

Abantu abenjawulo omubadde abaana, abakyala, abaami, abasibe, abaliko obulemu bebafunye obujjanjabi era abamanyo bebasinze obunji mu lusisira luno era abasinga bavuddewo basannyufu olwobuwereza buno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});