Brice Oligui Nguema awangudde akalulu e Gabon n'ebitundu 90 ku 100
Apr 14, 2025
MUNNAMAGYE eyakulemberamu okuwamba obuyinza e Gabon mu 2023, Gen. Brice Oligui Nguema ategese akalulu n’akawangulira ku bitundu 90 ku 100.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Willy Semmanda
MUNNAMAGYE eyakulemberamu okuwamba obuyinza e Gabon mu 2023, Gen. Brice Oligui Nguema ategese akalulu n’akawangulira ku bitundu 90 ku 100.
Mu kalulu kano akaabaddemu enkalu olw’okuleeta ssemateeka n’omukono ogw’ekyuma ku bandibadde bamuvuganya okw’omuzinzi, Gen. Nguema yasigazzaamu amuvuganya omunafu ennyo Alain Claude Bilie-by-Nze, eyafunye obululu bwa bitundu bisatu (3) byooka ku 100.
Obuwanguzi bwa Gen. Nguema 50, bwongedde okumunyweza mu ntebe enkulu kw’abadde amaze emyaka ebiri era y’enninga eyasembyeyo mu kukomya obukulembeze bwa famire y aba Bongo obwali bukulembedde Gabon okuva mu 1967.
Gabon, nsi ya Masekkati ga Africa emanyiddwa ennyo ol’okuba n’amafuta n’embaawo ng’erimu abantu obukadde bubiri n’ekitundu naye ng’abantu abasoba mu bitundu 35 ku 100 bakyali baavu balunkupe.
No Comment