Minisitule y'ebyenguudo eyise abaawa UNRA ebyapa okubikima

May 02, 2025

MINISITULE y’ebyenguudo eyise abantu okukima ebyapa bye baawa UNRA nga bagenda okukola enguudo ez’enjawulo okwetooloola eggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITULE y’ebyenguudo eyise abantu okukima ebyapa bye baawa UNRA nga bagenda okukola enguudo ez’enjawulo okwetooloola eggwanga.

Okuddiza abantu ebyapa kwakumala wiiki ssatu okuva nga May 12, 2025 okutuusa nga June 10, 2025 ku kitebe kya minisitule ku luguudo lwa Old Portbell Road. 

Enguudo ezikolebwa kati nnyingi mu kampala ne Uganda okwetooloola awamu.

Enguudo ezikolebwa kati nnyingi mu kampala ne Uganda okwetooloola awamu.

Ebyapa bino byaweebwayo abantu eri ekitongole kya UNRA bwe baali bagenda okukola enguudo ez’enjawulo kisobole okusalako ettaka kwe baali bayisa enguudo ez’enjawulo. Mu kiseera kino UNRA yavaawo era emirimu
gyayo ne gizzibwa mu minisitule y’Ebyenguudo.

Omulimu gwawuddwaamu ebibinja ng’ekisooka okuli abali ku nguudo okuli; Busega - Nsangi Road, Muyembe - Nakapiripirit -Moroto, Mpigi-Kanoni ne Mityana – Busega baakubibaddiza okuva nga May 12.

Ekibinja eky’okufuna ebyapa okuva nga May 15 kuliko abali ku nguudo; Mbarara – Kabale – Katuwa, Kashenyi – Mitoma, Sembabule – Villa Maria, Kagamba – Rukungiri, Hoima – Butiaba – Wanseko ne Pallisa Kamonkoli.

Okukola oluguudo lw'e mukono lwe kwatongozebwa

Okukola oluguudo lw'e mukono lwe kwatongozebwa

Ekibinja ekyokusatu kyakufuna ebyapa okuva nga May 20-23, 2025 nga kukiko abali ku nguudo; Kigumba – Bulima, Nsangi - Kamengo, Masaka – Bukakata, Kisoro – Bunagana ne Kabale-Katuna. 

Ekibinja ekyokuna bafune ebyabwe okuva nga May 26; abali ku nguudo Mubende – Kakumiro, Jinja Nile Bridge, Mubdende, Kakumiro & Kagandi Project. Ekibinja kyokutaano baakufuna okuva nga June 29 okuli; Busunju - Kiboga- Hoima Road, Kampala Entebbe Expressway, Soroti - Katakwi Aksim.

Ekibinja kyomukaaga bafune wakati wa June 4-10, omuli; Kampala Northern ByPass, Mukono Katosi Kyetume. Abanaakima ebyapa balagiddwa okutambula ne densite z’eggwanga n’empapula ezibawa obuvunaanyizibwa
bw’okuddukanya ettaka eryogerwako eza Powers of Attorney/ Letters of Administration gattako ekiwandiiko ekirala kyonna ekyabaweebwa UNRA.

Okumanya ebisingawo balagiddwa okutuukirira avunaanyizibwa ku by’okupunta ebyapa mu minisitule, Dennis Kanyesigye ku ssimu 0772 631 352.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});