Agambibwa okupanga olukwe mwe baakubira abasuubuzi 4 amasasi agaabattta e  Amudat  akwatiddwa

OMUSAJJA agambibwa okupanga olukwe mwe baakubira abasuubuzi bana amasasi agaabattira mu mmotoka mu disitulikiti ya Amudati , akwatiddwa.

Fred Enanga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#olukwe #okutta #abasuubuzi #amudat #bamukutte

Bya Godfrey Kigobero

OMUSAJJA agambibwa okupanga olukwe mwe baakubira abasuubuzi bana amasasi agaabattira mu mmotoka mu disitulikiti ya Amudati , akwatiddwa.

Rashid Binyota, ye yakwatiddwa poliisi e Mbale ku bigambibwa nti yagulirira muganda we Umaru Binyota 34 okumutta, era amasasi mwe gakwatira abalala basatu.

Abattibwa abalala kwaliko: Abaasi Mubajje 23, Umaru Walime 40, Alamanzaani Booyi 25 nga bonna baali basuubuzi ba nte.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga ,Fred Enanga, agambye nti, Binyota mu kumukunya, yakkiriza nga bwe yagulira abatemu olw'embiranye mu bizinensi, okutta muganda we, nti naye amasasi ne gatwaliramu abalala basatu.