ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya JBK Plaza ku Luwum Street ge bakaaba ge bakomba oluvannyuma lw’ababbi okuyingira ekizimbe kino ne bamenya amaduuka gaabwe 17 ne babbamu ssente enkalu ze babadde baterese mu sseefu ne bakuulita nazo.
Omu ku musuubuzi gwe babbye ng'alaga akasawo akaabaddemu ssente.
Bano baakedde ku Mmande okuggula amaduuka gaabwe wabula ne basobwerwa bwe baasanze nga amaduuka gamenyeddwa ku mmayiro 3 ne babbamu ssente ne beebuuza abakuuma ekizimbe kino gye baabadde ne balemwa okubataayiza.
Frank Kakooza omu ku bakolera ku kizimbe kino nga naye baamumenyedde edduuka yagambye nti ababbi baatutte ssente ne yeebuuza abakuumi gye baabadde kuba ekizimbe kino tebakiggula ku lunaku lwa Ssande.
Yagambye nti olukwe lw’okubamenyera amaduuka omu ku bakuuma ekizimbe kino amanyiddwa nga Bosco yandiba nga yalubaddemu kuba bwe bagguddewo ku Mmande tebaamusanzeewo ate nga y’alina ebisumuluzo ebiggula ebizimbe era nga kkamera z’oku maduuka zaamukutte ng’alagirira ababbi.
Erimu ku dduuka lye baamenye.
“Tuli mu kunyolwa okw’amaanyi kuba ababbi baamenye amaduuka gaffe ne babbamu ssente.Abamu ku bannaffe baabadde baziterese nga beetegese okugenda okusuubula”, Kakooza bwe yagambye.
Yategezezza nti guno omulundi gwakubiri ng’ababbi babamenyera amaduuka gaabwe kyokka nannyini kizimbe n’atafaayo kunyweza byakwerinda nga kino kyawadde ababbi omukisa omulala ne baddamu ne babamenya.
Milly Ssembere yagambye nti mu dduuka lye mubaddemu sseefu ng’atereseemu obukadde 8 n’endala obukadde 4 era mu kuyingira edduuka baasoose kuggyako kkamera ze yassaamu.
Abamu ku basuubuzi nga basobeddwa.
“Mbadde nva mu kyalo ne bakola ku kizimbe ne bankubira nti edduuka lyange balimenye ne babba ne nsoberwa era bwe ntuuse nga banzibye era nga batutte ssente zokka tebatutte ngoye ziri mu duuka” Ssembera bwe yategeezezza.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala némiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi yafunye alipoota ku by’okumenya amaduuka g’aasuubuzi n’esindikayo abaserikale abanoonyereza ku misango ne bakung’aanya obujulizi.
Omukyala ng'alaga awaabadde ssente we baazibbye.
Yagambye nti poliisi okufuna amawulire kyadiridde abalongoosa ekizimbe abagenze okukola emirimu gyabwe okuzuula nga amaduuka agasinga gamenyeddwa
Yagambye nti abaserikale baafunye ebikwata ku maduuka g’abasuubuzi buli omu n’ayogera ssente ezabbiddwa era abaserikale ne bafuna obutambi obwakwatiddwa kkamera eziri ku maduuka gaabwe nga kati baatandise okumwekebejja.