Amawulire

Omukazi akaabye lwa bba eyamuddukako bw’agaanyi okudda n'amusuulira bbebi

 Omukazi agenze mu boobuyinza ng' amaziga gamuyitamu olwa bba okunoba n’amulekera bbebi ow’emyezi 10 nga n’ebyokulya tabaweereza.

Mudasiru ng'asitudde bbebi mukaziwe Nammondo gwe yamusuulidde..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Saul Wokulira               

 Omukazi agenze mu boobuyinza ng' amaziga gamuyitamu olwa bba okunoba n’amulekera bbebi ow’emyezi 10 nga n’ebyokulya tabaweereza.

Bayise bba n’ajja era omuwala atandikiddewo okumusaba ssente wabula omuvubuka akombye ku ppaasi nti tasobola kukuba nkyukira olw’omuwala omukupeekanga ensimbi era nga mu kwagala ssente akirako amayembe ate nga ye mufunampola.

 Omukazi amusuulidde omwana n’atambula mukungujjo, olwo omusajja n’asigala nga asiisiitira bbebi wabula ng'akaaba okwekutula.

Bano batuuze mu tawuni y’e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga era bombi bakola gwa Mobile Money ng'omuwala yeekozesa ate omuvubuka aliko omugagga gw’akolera.

Nammondo Ng'akaabira Mu Ofiisi Ya Collins Kafeero.

Nammondo Ng'akaabira Mu Ofiisi Ya Collins Kafeero.

Jackline Nammondo 24, tumusanze ku kitebe kya disitulikiti e Kayunga mu ofiisi ya Collins Kafeero gye yagenze okuloopa bba Mudasiru Sseggwanyi 23 eyasibye engoye ze n’amuleka mu nnyumba.

Nammondo ng' amaziga gamuyitamu agambye nti ayagala aboobuyinza bamugambire ku bba Mudasiru akomewo abalabirire kubanga n’ennyumba mwe yabaleka epangisibwa 100,000/- buli mwezi.

Nammondo ayagala omusajja amuwe ssente 400,000/- buli mwezi bw’aba ssi waakudda mu maka, nga ku zino nga kuliko ez’okupangisa ennyumba, okulya n’obujjanjabi.

Mudasiru agamba nti enfuna ye ntono kubanga bamusasula 300,000/- ate ku zino kw’alabirira jjajjaawe e Buikwe era nga omukazi enyingizaye eriko waggulu kubanga bizinensi ya Mobile Money yiye , wabula tayagala kutoola wadde ennusu ng'omukazi ne bw’agulira omwana ka swiiti azibanja omusajja azisasule.

Nammondo Ne Bba Mudasiru.

Nammondo Ne Bba Mudasiru.

Mudasiru agambye nti mukazi we Nammondo mu kwagala ssente yasukka era nti olumu yawamba eza nakamaabe n’azigaanira olwo omusajja n’agwa mu mabanja.

Wabula omuwala olumugambye nti ssente zaayagala teziriiwo mu budde buno, ajja mukuwa oluvannyuma, amaziga ne geeyongera n’asuulira omusajja omwana n’atambula mukungujjo n'abulawo.

Collins Kafeero agambye nti ebiriwo biraga nti omusajja abadde afuba okulabirira ffamire ate nga aliko n’obuvunanyizibwa bw’okulabirira abakadde wabula omukazi tawuliriza.

Ku by’okusuula omwana Kafeero alagidde Mudasiru agende ku poliisi aggulewo omusango gw’okusuula omwana.

 

 

Tags:
omukazi
akaaba
bba
amusuulidde
bbebi