OMUKAZI agambibwa okutta omwana we ow'emyaka 2 , omulambo gwe n'agusuula mu luzzi, poliisi e Kabale emukutte.
Sylvia Akankwasa y'agambibwa okuba ng'abadde amaze ennaku , nga talina mwanawe ekiwalirizza abatuuze okumukunya n'okunoonya ne bazuula engoye ze mu kabuyonjo.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi , Elly Maate, agambye nti basobodde okunnyululayo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kabale ng'okubuuliriza kugenda mu maaso