Amawulire

Mukyala Museveni yagabye ettaka ku lunaku lw'abakyala

MUKYALA Museveni era minisita w’ebyenjigiriza mu ggwanga, Janet Kataha Museveni, atandise enteekateeka ey’okuwa abakyala okuva mu musipaali y’e lubaga ettaka.

Abakyala nga basanyukira nga bali ne Mbaziira ne Sarah Kanyike nga basanyukira ettaka
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

MUKYALA Museveni era minisita w’ebyenjigiriza mu ggwanga, Janet Kataha Museveni, atandise enteekateeka ey’okuwa abakyala okuva mu musipaali y’e lubaga ettaka.

Mu nteekateeka eno, mukyala Museveni ng’ayita mu kibina kyeyatandikawo n’ekigendererwa ky’okusitula embeera z’abakyala mu Lubaga ekya Grameen, Olw'okutaano nga March 8, ng’ensi yonna ekuza olunaku lw’abakyala, bano baabadde batongoza ttaka lino lye baayise Kakiri Grammen Village.

Ekibangirize ky'ettaka Mukyala Museveni lyeyawadde abakyala e Kakiri

Ekibangirize ky'ettaka Mukyala Museveni lyeyawadde abakyala e Kakiri

Sipiika w’eggombolola y’e Lubaga, Musa Mbaziira, akulira Grammen, ng’ali wamu n’omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z’ebyobufuzi mu Kampala, Sarah Kanyike, baalaze abakyala bano ettaka lye bagenda okugulako ku miwendo emitono nga lisangibwa Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso era nga liwezaako obugazi bwa yiika 12 nga lya temeddwamu poloti eza 50 ku 100 abakyala ze bagenda okugula.

Mbaziira yanyonyodde nti maama Museveni yeeyama okulaba ng’akola kyasobola okusitula embeera za bakyala era nateeka obukadde 100 mu nsawo y’abakyala eya Grammen mwe bazze beewola nga bwebazaayo kumagoba amatono okutuusa ate bwe baaguze ettaka lino ng’abakyala bagenda kuligula ku ssente eza wansi.

Sarah Kanyike yeebazizza maama Museveni olw’okulumirrirwa abakyala era naasiima Mbaziira ne banne olw’okukulembera obulingi ekirooto kya mukyala Museveni okulaba nga basitula abakyala era bwatyo n’akutira abakyala obutakkiriza kusigalira mabega nga waliwo omukisa oguba guzze nga guno.