Amawulire

Emirambo 3 egy’abaafiiridde mu nnyanja gikyabuze

EMIRAMBO gy’abasuubuzi abaafiiridde mu nnyanja nga bava ku bizinga by’e Zzinga nga boolekera Nakiwogo egimu gikyabuze.

Balubbira nga bawanise engalo okutegeeza bannaabwe nti emirambo mwegiri.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Godfrey Ssempijja

EMIRAMBO gy’abasuubuzi abaafiiridde mu nnyanja nga bava ku bizinga by’e Zzinga nga boolekera Nakiwogo egimu gikyabuze.

Abafiiridde mu lyato, kuliko Nnaalongo Naluswa ow’e Bussi, Grace 22 ow’e Kapa Kalebi Balabala e Bussi, Lucky ow’emyaka 2 muwala w’omugenzi Grace. Emirambo gya bano, gyazuuliddwa eggulo.

Emirambo egikyabuze, kuliko ogwa Emmanuel Nsubuga 35 ow’e Kasanje nga ye yabadde avuga eryato, Francis Mundenkye 50 ow’e Bushenyi, ssaako Maama Claire nga w’e Kisoro.

Eryato lyabaddeko abantu 17 era ekkumi abaataasiddwa kuliko; Flex Asiimwe, Leticia Akatukwasa, Justine Namata, John Isingoma, Pius Twinamatsiko, Robert Tumusiime, Selestine Maniriho, Simeon Tumuhimbise, Joel Tinkansimire, Aisha Namuyomba ne Frank Galiwango.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, yagambye nti eryato lino erya Steven Muragye, eryabadde ligolomolwa Emmanuel Nsubuga, lyasimbudde okuva ku mwalo gwa Balabala okwolekera Nakiwogo era abaabaddeko baabadde batwala birime.

Kigambibwa nti eryato lino okugwamu kyavudde ku yingini okugwa mu nnyanja era baabadde bagezaako okugisikayo eryato ne ligwamu ne liyiwayo abantu n’ebintu byabwe .

Kigambibwa nti ng’oggyeeko abantu eryato lyabaddeko , enkota z’amatooka nga 200, ensawo za muwogo 7 n’ebintu ebirala.

Tags:
Emirambo
nnyanja
gikyabuze
abaafiiridde