ABANTU babiri battiddwa mu ntiisa, emirambo gyabwe ne girekebwa mu nnyumba abatuuze mwe baagisanze nga gingalamye mu bitaba by'omusaayi.
Kigambibwa nti waliwo omugenyi akyadde awaka, n'asangawo omuvubuka ono kyokka n'alemwa okumunnyonnyola abagenzi gye babadde, ekireeseewo okuteebereza nti y'andiba ng'alina ky'amaanyi ku kuttibwa kwabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti oluvannyuma lw'okukwata omuvubuka oyo, abatuuze bakkakkanye ku nnyumba ne bagimenya nga baagala kumugajambula kyokka poliisi n'emutwala n'emuggalira ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.