Ebyewuunyisa ku mbuga ya Tabula anoonyezebwa

Mar 15, 2024

 Bukedde atuuse mu mbuga ya Tabula Luggya anoonyezebwa abee­byokwerinda ku ttemu eryakolebwa ku mutaka Lwomwa Ying. Daniel Bbosa Kakeedo. Embuga yagikuba ku lusozi Saabwe ku kyalo Kabanga mu Mpigi Town Council era Buke­dde bwe yatuuseeyo yasanzeeyo ebyewuunyisa.

NewVision Reporter
@NewVision

 Bya Paddy Bukenya  Ne Dickson Kulumba

 Bukedde atuuse mu mbuga ya Tabula Luggya anoonyezebwa abee­byokwerinda ku ttemu eryakolebwa ku mutaka Lwomwa Ying. Daniel Bbosa Kakeedo. Embuga yagikuba ku lusozi Saabwe ku kyalo Kabanga mu Mpigi Town Council era Buke­dde bwe yatuuseeyo yasanzeeyo ebyewuunyisa.

Embuga eno esangibwa waggulu ku lusozi era omusasi wa Bukedde yatuuseewo mu ssaawa z’amalya g’ekyemisana, wabula teyasanzeewo muntu n’omu.

Abantu ababeera okumpi n’embuga eno bakira boogera bitono ddala mu ngeri y’okutya ebiyinza okuddirira nga n’abamu bagamba nti Tabula babadde bamumanyiiko kitono.

Embuga erimu amasabo ng’agamu gaaserekebwa na mabaati, wadde nga okumpi awo waasangid­dwaawo entuumu y’essubi.

Mu mbuga era mwasangid­dwaamu ekinnya ekiwanvu ekyasim­wa nga si kibikkeko, nga kizibu oku­manya lwaki kyasimibwa, kubanga okumpi ate we wali kaabuyonjo ey’emizigo ebiri.

Omugenzi Bbosa

Omugenzi Bbosa

Okuliraana ekinnya waasim­bibwawo ebitoogo ssaako ebika by’eddagala ery’enjawulo eriteeber­ezebwa okuba nga libadde likoz­esebwa okujjanjaba ‘abalwadde’ ababadde beeyuna embuga eno.

Ku bbali awo yasimbawo n’omulamula nga guno oluusi gukozesebwa mu kuvumula, wabula baliraanwa baagambye nti yandiba nga yagusimba okwawula embuga ye ne poloti endala oluvannyuma lw’okusalaasala mu lusozi luno poloti ez’enjawulo ne zitundibwa.

Ssentebe w’ekyalo kino, Alice Nagawa Musisi yagambye nti enfunda z’alabye ku Tabula abadde yeesumika olubugo era nga buli w’abeera atambula n’akaliga aka­beera kamuvaako emabega.

Baliraanwa ba Tabula bagamba nti okuva lwe yasenga e Kabanga abadde yeeyisa mu ngeri ebeewuu­nyisa era abasinga babadde batya n’okwogera naye.

Abantu ababadde bagenda okukola ku bizibu byabwe babadde batera kubeera ba kika kya Ndiga kyokka nga tebalwayo nnyo.

Ababadde bagendayo abadde atera kubatuma essubi era mu mbuga lyasangiddwaawo mu bungi.

Abavunaanibwa Nga Bali Mu Kaguli. Wakati Ye Luggya.

Abavunaanibwa Nga Bali Mu Kaguli. Wakati Ye Luggya.

Tabula yasenga mu Mpigi emyaka egisoba mu ebiri egiyise. Kigambibwa nti okusenga yagenda n’abavubuka bana okuli ne Noah Luggya eyavunanaaniddwa n’abalala bana omusango gw’okutta omutaka Lwomwa Bbosa.

Ssentebe Musisi yagambye nti Tabula yali yazimbira Luggya en­nyumba mw’abadde asula nga gy’osookako n’olyoka oyambuka waggulu mu lusozi awali embuga.

Ku Lwomukaaga oluwedde Lug­gya yakulembeddemu abeebyokwer­inda n’abatwala ku nnyumba eno ne bagyaza okubaako obujulizi bwe bafuna.

Kigambibwa nti abavubuka bano Tabula be yafuna abadde abakozesa emirimu egy’enjawulo wabula nga Luggya y’abadde asinga okubeera ennyo ku lusegere lwa Tabula.

Kigambibwa nti Tabula abadde alunda n’ente ssaako embuzi ku lusozi luno, wabula okuva omutaka Lwomwa lwe yattibwa, baliraanwa tebaddamu kulaba ku bisolo bino, wadde okulaba ababadde babeera mu mbuga eno. Okuva olwo ne Ta­bula tebaddangamu kumulabako era ekifaananyi kya Luggya bwe kyafu­lumidde mu Bukedde abatuuze b’e Kabanga ne bongera okwewuunya kubanga Luggya babadde bamulaba ng’omuvubuka omusirise ennyo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});