Bya Mathias Mazinga
Omutukuvu Paapa Francis asiimye Abaminsane b’ekibiina kya Mill Hill Fathers olw’okw’olesebwa okw’ekitiibwa kwe baafuna ne batandikawo Seminario ento ey’e Nyenga, etendese Abasaserdooti n’Abakristu Obukristu bangi abatadde ettoffaali ku nkulaakulana ya Klezia n’eggwanga.
Paapa Francis, obubaka bwe yabutisse Omubaka we mu Uganda, Ssabepiskoopi Luigi Bianco eyabusomedde Abakristu mu Mmisa ey’okwebaza Katonda olw’emyaka 100 bukya Seminario y’e Nyenga etandikibwawo.
Omwepiskoopi Christopher Kakooza Ku Kkonon'omubaka Wa Paapa Luigi Bianco Nga Bakwasa Ssabasumba Paulo Ssemogerere Ekirabo.
Akulira Seminario Y'e Nyenga Faaza Eugene Safari Ng'awa Obubaka Bwe.
Ssaabakristu Wa Uganda Gervase Ndyanabo Ng'ali N'owekitiibwa Walusimbi Ssengendo N'abagenyi Abalala.
Omukolo gwabadde mu Seminario eno esangibwa ku kyalo Nyenga, mu disitulikiti y’e Buikwe, ku Lwomukaaga.
Seminariyo eno ewolerezebwa Yozefu Omutuukirivu y’atandikibwawo Abaminsane aba Mill Hill mu 1924.
Omukolo gwakuliddwa Ssabepiskoopi Luigi Bianco ng’ayambibwako Omwepiskoopi w’e Lugazi Christopher Kakooza, n’akulira Seminario eno, Faaza Eugene Safari.
Abepiskoopi abalala okwabadde: Ssabasumba Paulo Ssemogerere ow’essaza ekkulu ery’e Kampala, Ssabepiskoopi Augustine Kasujja, Omwepiskopi w’e Masaka Severus Jjumba, Omwepiskoopi w’e Kotido Dominic Eibu, Omwepiskoopi w’e Lugazi ey’awummula Matia Ssekamaanya, ne Ssentebe w’olukiiko lw’Abepiskoopi ba Uganda Dokita Joseph Antony Zziwa nabo omukolo guno baagwetabyeko.
Ekizimbe Ky'ekijjukizo Ky'ekyasa Kya Seminario Y'e Nyenga Ekyagguddwawo Ssabepiskoopi Luigi Bianco
Omukolo gwasombodde n’abanene okwabadde: Omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, minisita Joseph Kyofatogabye, omusuubuzi King Caesar Mulenga, Owek. Walusimbi Ssengendo, Ssaabakristu wa Uganda Gervase Ndyanabo ne bannabyabufuzi okuva mu kitundu ky'e Buikwe.
Akulira Seminario eno, Faaza Eugene Safari yeebazizza. Rt/ Hon. Thomas Tayebwa, Hon. Dr. John Chrysostom Muyingo, Polofeesa Jude Lubega ne Genero Katumba Wamala olw’okwagala Seminario n’okujiwagira.
Omubaka Lulume Bayiga Ku Ddyo, King Caesar Mulenga, Rt. Hon. Thomas Tayebwa, Minista Joseph Kyofatogabye N'abagenyi Abalala Mu Mmisa.
Akulira Abaseminario, Augustine Kasujja Ku Kkono Ng'awa Obubaka Bwe. Amuyambako Ye Mumyuka We Lawrence Kasibante.
Yasiimye ne Dokita Emmanuel Katongole, aba Gacheri famire nga bakulembeddwaamu Joseph Mugisha, Betty Muleego, Taban Idro, Engineer Silver Mugisha, Dr. Peter Kimbowa, Humphrey Ichuma, Yinginiya Hajjat Aisha Muziransa ne Yinginiya Jack Mugabe b eyagambye nti bawagidde Seminariyo mu ngeri ey’enjawulo.
Omwepiskoopi Christopher Kakooza yeebazizza Faaza Safari olw’okuba n’emikwano emingi egyimuyambye okutambuza Seminario nga tasabye ssaza ssente.
Omukolo nga gwakatandika, Ssaabasumba Bianco yagguddewo ekizimbe eky’omulembe ekijja okubeerako etterekero ly’ebitabo, n’ekisenge Abaseminario mwe bagenda okusomeranga essomo ly’ebyuma bikalimagezi. Ekizimbe kino ky’ekijjukizo ky’ekijaguzo ky’ekyasa kya Seminario eno.