Ab'essomero lya Luzira SS bajaguzza emyaka 40 bukya litandikibwa omulabirizi w'e Namirembe nabakuutira okubala ebibala
Mar 25, 2024
AB’ESSOMERO lya Luzira SS bajaguzza okuweza emyaka 40 bukyanga ssomero litandikibwawo ekkanisa ya Uganda, ne beebaza katonda olw’ebirungi byabatuusizzaako mu kiseera kino, omuli n’okuyisa abayizi obulungi ku mitendera egy’enjawulo Ab'essomero lya Luzira SS bajaguzza emyaka 40 bukya litandikibwa omulabirizi w'e Namirembe nabakuutira okubala ebibala

NewVision Reporter
@NewVision
AB’ESSOMERO lya Luzira SS bajaguzza okuweza emyaka 40 bukyanga ssomero litandikibwawo ekkanisa ya Uganda, ne beebaza katonda olw’ebirungi byabatuusizzaako mu kiseera kino, omuli n’okuyisa abayizi obulungi ku mitendera egy’enjawulo.
Ebijaguzo bitandise na kusaba okwakulembeddwaamu omulabirizi w’e Namirembe, Rt. Rev Moses Banja ng’aweerekeddwaako ssabadinkoni w’e Luzira Ven Geofrey Wilson Kakooza.
Yeebazizza Katonda olwa byonna essomero byerituuseeko, neyeebaza omukulu w'essomero lino Peter Hormisdas Ssenyimba olw'omulimu omulungi gwakoze okuliyitimula, na bonna abamuyambyeko naddala abasomesa, abazadde n'olukiiko lwessomero olufuzi.
Abayizi ba Luzira
Akubirizza abayizi okwetegekera okubeera ab’omugaso, baabale ebibala ebirungi ebitwala ensi yaabwe mumaaso, nga beesigama mu kitabo kya John 15;16, ekigamba; “manyi okuyitibwako, beera mwetegefu okubala ebibala era okakase nti ebibabala byo bya mugaso”.
Abantu ab’enjawulo beetabye mu bijaguzo bino okubadde; Miria Matembe eyaliko minisita w’empisa n’obuntubulamu, omubaka wa paalamenti owa Nakawa East, Ronald Balimwezo Nsubuga, meeya wa Nakawa Paul Mugambe ne banabyabufuzi abalala.
Akulira essomero lino Peter Hormisdas Ssenyimba, yeebazizza katonda okubatuusa ku myaka 40, n’okubasobozesa okukola ebingi byonna ebituukiddwaako, agamba;
Twebaza Katonda, ekkanisa ya Uganda eyatandikawo essomero, gavumenti eyambako abayizi okusoma, abazadde, ab’ekitundu, abasomerako mu ssomero lino, na bonna abayambyeko essomero okukula.
Ebijaguzo by'essomero lya Luzira
“Behold, Iam doing a new thing” gwe mubala gwaffe omwaka guno.era tugusuubiramu bingi.
Omutindo gweby’enjigiriza gweyongedde nyo ku Luzira SS, abayizi bongedde okukuguka mu mizannyo; okubaka, omupiira, woodball n’ebirala bingi.
Ku mukolo guno essomero litongozza emmotoka empya eyaguliddwa okujjukira emyaka 40, n’abayizi abapya abayingidde ekkanisa nabo nebateekebwako emikono
No Comment