Abadde amaze ennaku 4 nga talabika ku kyalo basanze mulambo mu nju nga gwavunda dda!

May 19, 2025

Omugenzi Lugemwa Banku ow’emyaka 50, okuzuula omulambo gwe kiddiridde abatuuze abakedde okuyita okumpi n’amakaa ge eno ekivundu n’enswera ezibadde ziri ku luggi ze zibategeezeza nti munda mulimu ekyafiiramu.

NewVision Reporter
@NewVision

Abatuuze ku kyalo Sseke A mu tawuni kkanso y’e Kinoni mu disitulikiti y’e Lwengo baguddemu entiisa bwe basanze omulambo gwa mutuuze munnaabwe ateeberezebwa okufiira mu nnyumba okumala wiiki nnamba.

Omugenzi Lugemwa Banku ow’emyaka 50, okuzuula omulambo gwe kiddiridde abatuuze abakedde okuyita okumpi n’amakaa ge eno ekivundu n’enswera ezibadde ziri ku luggi ze zibategeezeza nti munda mulimu ekyafiiramu.

Soko Wa Poliisi Ne Dr Twaha Kagabo Abeekebejjezza Omulambo.

Soko Wa Poliisi Ne Dr Twaha Kagabo Abeekebejjezza Omulambo.

Bano baategezeza ssentebe w’ekyalo kino, Hajji Bruno Mustapher ayise poliisi y’e kinoni ng’ekulembeddwa oc waayo ASP Gume Ronald abamenye oluggi ne basanga ng’omugenzi yafiira mu nnyumba.

Amangu ddala baayise omusawo, Dr. Twaha Kagabo Muzei omutuuze ate era nga mubaka w’ekitundu kino eyeekebejjeza omulambo n ekizuulwa nga omugenzi yanywa omwenge nga talidde ekyamuviirako olulimi okwesiba.

Omugenzi asangiddwa ng’omulambo gwe guyubuseeko olususu ekiraga nti amaze akabanga akawera ng’afudde.

 

Ssentebe w’ekyalo, Hajji Bruno Mustapher avumiridde eky’abantu abasuse okusula mu mayumba bokka kuba omugenzi yeggyako ffamire ye n’asalawo abeere yekka ekintu eky’obulabe.

Abaffamire y’omugenzi okubadde Ramathan Walugembe ne Quraish Luyinda basiimye abatuuze ne Dr. Kagabo eyeekebejjeza omulambo nga tabaggyeeko yadde ennusu.

Bo abatuuze omugenzi  baabadde awangaala nabo bategeezezza nga bwe babadde bamaze ennaku nnya nga tebamulaba ekibadde kibaleetedde entiisa kuba nti abadde tayosa bbaala. Omulambo poliisi egulekedde abaffamire baguziike.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});