Abatereka mu NSSF 60 ku 100 tebaziganyulwamu

NSSF ekoze okunoonyereza n’ekizuula nti abateresi baayo 60 ku buli 100 tebaganyulwa mu ssente ze baggyayo kubanga baziggyayo nga tebakoze kwebuuza ne baziteeka mu bizinensi ezibalemerera ne zigwa.

Okuva ku kkono, akulira NSSF Patrick Ayota, George Ssajjabbi ow'ebyenfuna mu NSSF, Rosemary Mutyabule owa Enterprise Uganda, Dr Mugumuza ne Omojong..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Abatereka #NSSF #60 ku 100 #tebaziganyulwamu

Bya Willy Ssemanda

NSSF ekoze okunoonyereza n’ekizuula nti abateresi baayo 60 ku buli 100 tebaganyulwa mu ssente ze baggyayo kubanga baziggyayo nga tebakoze kwebuuza ne baziteeka mu bizinensi ezibalemerera ne zigwa.

Abalala ssente zino basinga kuzikozesa kuweerera baana, okugula ettaka, okuzimba oba okuddaabiriza ennyumba zaabwe.

Stephen Omojong, eyakulembedde okunoonyereza kuno agamba nti abantu abasinga obungi bye bakola mu ssente, ze baggyayo tezibayamba kubeera mu mbeera nnungi mu bukadde bwabwe wabula zikozesebwa kugonjoola bizibu eby’amangu ne bawunzika nga tebafunye nga bwe kyandibadde.

Stephen Omojong

Stephen Omojong

Okunoonyereza kuno okwakolebwa ku bantu 1,129 ku abo 72,713 abaggyayo ssente mu 2023, kwakizuula nti olw’okuba abantu bangi tebasooka kwebuuza oba kunoonya magezi mu bakugu bye bakola mu ssente zino tebibaganyula gamba ng’okuzisiga mu bu bizinensi obutonotono ne zifiirayo mu ngeri eya kifamukokko.

Akulira NSSF, Patrick Ayota bwe yabadde ayogera mu kutongoza lipooti eno okwabadde ku Golden TulIp Hotel mu Kampala yagambye nti buno bukakafu obulaga nti NSSF erina omulimu munene okusomesa abantu ku nkola entuufu ez’okusaasaanyaam ssente zino nga tebannaziggyayo.

Omojong yawadde n’amagezi nti omuzadde yandibadde azaala ng’obudde bukyali, n’atuuka ku myaka egiwummula nga takyaweerera baana batwala ssente nnyingi nnyo, ng’ensonga si ya muntu azadde baana bameka, wabula ya azadde ddi?