Bya Margret Zalwango
MUNNAMATEEKA Hassan Male Mabiriizi ateze Paasita Male ne banne akalippo bwaggyeeyo omusango gwe yawaaba ng'asaba kkooti bakeberebwe DNA okukakasa oba Mabiriizi muganda waabwe.
Omusango Mabiriizi yali yaguwaaba mu kkooti e Mukono nga DNA yagisaba oluvannyuma lwa baganda be okumwegaana kyokka naye ababusaabusa okubeera nga baana ba kitaawe.
Yasaba n'amagumba ga kitaabwe gaziikulwe, babakebere DNA bafune ekituufu.
Omulamuzi yalagira bakeberebwe kyokka Paasita Male ne banne ne bakiwakanya nnyo era ne bassaamu okujulira.
Ffamire eno erina emisango mingi mu kkooti egyekuusa ku ndaga butonde n'emmaali y'omugenzi oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu olumbe lwa kitaabwe lwe bayabya.
Kitaabwe omugenzi Muhammed Mutumba bwe yafa abaana nga bakulemberwa Paasita Solomon Male baayabya olumbe kyokka mu kiseera ekyo Mabiriizi yali mu kkomera era teyafuna kintu kyonna nga Male ne banne bagamba kitaabwe yafa amwegaanye ne mu ddaame teyamussaamu ng'omwana we.
Kkooti yasazaamu olumbe luno era Mabiriizi yaddukira mu kkooti ekola ku nsonga z'amaka e Makindye n'asaba eddaame kwe beesigama okugabana emmaali ya Mutumba lisazibwemu ng'agamba teriyaki ttuufu.
Mabirizi okuggyayo omusango gwa DNA bano yabateze kalippo kubanga bawakanya nti simwana wa Mugenzi ekitegeeza nti balina omutwala akeberebwe bafune ekituufu , kubanga bamusabuusa.
Kyokka Male ne banne baagaana dda eby'okugenda mu DNA wabula baatuuse ne bagyesabira kubanga waliwo obwetaavu bw'okukakasa oba Mabiriizi muganda waabwe oba abeesibako.
Abaagaba emmaali kuliko: Moses Solomon Male (Pasita Male), Sirim Mabiriizi Mutumba, Muhamed Mutumba Junior, Faisal Sebatindira Mutumba, Shafik Namala Mutumba, Rehema Nababi Mutumba, Farada Nambalirwa Mutumba, Shameem Mutumba ne Sophie Nassozi Mutumba
Bano baagamba kkooti nti okulagira okukola DNA kirinyirira eddembe lyabwe ku byama by’obuntu era yakola ensobi okulagira okukebera Mabiriizi n’abaana b’omugenzi, ekikontana n’eddaame ly’omugenzi eryasembayo nga teyassaamu Mabiriizi ng’omu ku baana be era atateekeddwa kufuna ku bintu.
Baayongerako nti mulamuzi Matyama era yawubwa bwe yagamba nti okukebera endaga butonde DNA kye kyokka ekijja okumalawo obutakkaanya wakati w’enjuyi zombi kye bagamba nti kikyamu.
Kyokka Pasita Male ne banne ssinga balemerako nti Mabiriizi si muganda waabwe balina omulimu okukakasa kkooti era obujulizi bubeera bwa ndaga butonde.
Wano Mabiriizi yakubye obulatti n'agamba nti Male ne banne bajja kwesabira DNA kubanga kye kyokka ekijja okakasa oba baganda be.
Bano baana b’omugenzi Muhamed Mutumba nga yafa Corona mu June 2022 ku myaka 82, era Paasita Male ne banne baayabya olumbe ne beegabira ebintu by’omugenzi byonna.
Ebintu by’omugenzi bye beegabira kuliko poloti bbiri ezigambibwa e Wakaliga nga kuno kuliko n’emizigo gy'abapangisa, poloti ssatu e Nateete nga nakwo kuliko; amaka n’ennyumba z'abapangisa ssaako poloti endala bbiri e Kamwokya.