Ebya Male Mabirizi bikalubye oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu okusaba kw’okweyimirwa.
Okugobwa kw’okweyimirira kyaddirira oludda oluwaabi okusaba kkooti okusazaamu okusaba kwabwe olw’ensonga ya Mabirizi obutabeera na kifo kituufu kiraga w’abeera.
Mu nsala y’omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa gy’awadde kkooti asinzidde ku nsonga y’abeeyimirira Mabirizi nti baaleeta endagamuntu ezaggwaako ng’ ate gavumenti yateekawo obudde abantu okuddayo okwewandiisa obuggya era bano baalemererwa okuleeta ebiwandiiko ebikakasa nti baddamu okwewandiisa.
Ku nsonga ya Mabirizi obutaba na ndagamuntu yateekayo ennamba wabula Nin eyo terambika bulungi nti ono alina endaga muntu.
Wano we yasinzidde n’agoba okusaba kw’okweyimirirwa kwe era wano munnamateka wa Mabirizi Anthony Asiimwe n'asaba omulamuzi okuyimiriza omusango guno okugenda mu maaso olw’ensonga nti balina ffayiro ze baggulawo mu kkooti etaputa ssemateeka.
Wabula Mabiriizi talinze munnamateka we kumaliriza kusaba n’ategeeza nga bw’ayagala omulamuzi ave mu musango gwe kuba kati yaakakulungula ennaku 31 mu kkomera bukyanga aggulwako misango.
Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuusa nga March 20,2026 okumanya we gunaaba gutuuse wamu n’okutandika okuwulirwa.
Mabiriizi avunaanibwa emisango 4 okuli egy’okusaasaanya obubaka obukyamu wamu n'okusiga obukyayi bwe yakozesa ebyuma bi kalimagezi ng’agamba nti Ssaabalamuzi w'eggwanga Flavian Zeija n'omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana bali ba nguzi