Amawulire

Ekiteeso ky'okuggyamu Mpuuga ne banne obwesige kikutte enkaddaggo

WALEERO Ababaka abatambuza ekiteeso ky’okugoba Mpuuga ne banne ku bwa Kaminsona bwa Palamenti, lwe bafulumya olukalala lw’ababaka abatadde emikono ku kiteeso kino, okusobozesa abalonzi okugoberera obulungi.

Namuganza nga yaakamala okussa omukono ku kiwandiiko okuggyamu bakamisona obwesige. Ku ddyo ye Ssekikubo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OLWALEERO Ababaka abatambuza ekiteeso ky’okugoba Mpuuga ne banne ku bwa Kaminsona bwa Palamenti, lwe bafulumya olukalala lw’ababaka abatadde emikono ku kiteeso kino, okusobozesa abalonzi okugoberera obulungi.
Ssaabakunzi w’ekiteeso kino, omubaka Bashir Lubega Ssempa (Mubende Municipality), yagambye nti baafunye amawulire nti ababaka abamu babadde balimba abalonzi baabwe nti baatadde emikono ku kiteeso kino, ate nga tebannaba, nga kati baagala buli mubaka ategeerekeke waagwa ku nsonga eno.
“Tugenda kufulumya olukalala nga tuteekako amannya g’ababaka abawagira ekiteeso kino mu buli disitulikiti ya Uganda, abalonzi basobole okumanya ababaka abakyayimiridde nabo, n’abo abawagira obukenuzi n’obuli bw’enguzi,” Lubega bwe yagambye.
Yagambye nti we bwazibidde eggulo nga baakaweza emikono 150 ku 177 egyetaagisa okugoba Mpuuga ne banne ku bwakominsona.
MALE MABIRIZI AGGYEYO OMUSANGO
Munnamateeka Hassan Male Mabiriizi aggyeeyo omusango gwe yali yawaabira Mpuuga ne bakaminsona abana nga abavunaana okwegabira ssente akawumbi kamu n’obukadde 700 (1,700,000,000/-) nga beesiima olw’emirimu gye baakola.
Mabiriizi yagambye nti omusango yaguggyeeyo oluvannyuma lw’okuwulira omubaka Asuman Basalirwa (Bugiri Municipality) ng’agamba nti ekiteeso ky’okugoba bakaminsona ekikulembeddwaamu omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) tekirina lugendo kubanga ensonga zikyali mu kkooti, nga yeesigama ku musango Mabiriizi gwe yateekayo.
Mabiirizi yaggulawo emisango okuli okufuna ssente mu lukujjukujju, okwekoobana okemisango, okwekobaana okubba, nga gyonna giwerera ddala 10.
NAMUGANZA ATABUKIDDE ABABAKA ABATANNATEEKA MUKONO KU KITEESO
Minisita omubeezi ow’amayumba era omubaka akiikirira Bukono e Namutumba mu Palamenti, Persis Namuganza yagugumbudde ababaka abeeremye okussa emikono ku kiwandiiko ekigoba bakaminsona n’ategeeza nti nabo kati bali ku nguzi y’ebagaanyisizza okuteeka emikono ku kiteeso kino.
Namuganza bino yabyogeredde ku Jevine Hotel mu Lubaga ku mukolo gw’okutuuza Pulezidenti wa Lotale ya Nateete - Kampala ow’e 17 Florence Hope Bulya Birungi n’agamba nti buli mubaka aleeta obusongasonga obutaliimu nga yeewolereza obutassa mukono ku kiteeso kino, kyongera okulaga nti baagabana bonna ssente zino, kw’ossa endala ze babba Bannayuganda ne batamanya.
Ababaka naddala abali ku ludda oluwabula gavumenti abaalaze nti si baakussa mukono ku kiwandiiko kino mulimu;
Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Municipality), Asuman Basalirwa (Bugiri Municipality), Joyce Bagala (mukazi/Mityana), Juliet Kakande (mukazi/Masaka City) n’abalala. Bano baagambye nti ssente ze bavunaana bakaminsonabaaziyisa bonna mu Palamenti nga tebasobola kwefuula