Amawulire

Minisita Judith Nabakooba awabudde abakyala ku nsonga z'ettaka

MINISITA w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga  Judith Nabakooba asabye abakulembera enzikiriza ez’enjawulo naddala zinnansangwa okutandika  okukuba n’okufuna ebyapa by’enzikiriza zaabwe kino kibayambeko okuliwonya bakyala kimpadde.  

Minisita Judith Nabakooba ng'ayogerera mu lukung'aana lw'abakyala
By: Procopios Lumu, Journalists @New Vision

MINISITA w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga  Judith Nabakooba asabye abakulembera enzikiriza ez’enjawulo naddala zinnansangwa okutandika  okukuba n’okufuna ebyapa by’enzikiriza zaabwe kino kibayambeko okuliwonya bakyala kimpadde.

Nabakooba okwogera bino abadde  mu kusaba okwokukuza olunaku lw’abakyala  mu nsi yonna abettira mu nzikiriza zinnansangwa  olukwatibwa buli mwaka nga omulundi guno lubadde mu Basodookisi ku kkanisa y’omutukirivu Nicolaos e Namungoona.

Metropolitan Muzeeyi ng'ali n'abakyala

Metropolitan Muzeeyi ng'ali n'abakyala

Nabakooba ategeezeza nti mu kiseera kino abakulu munzikiriza batandike okutema empenda okulaba nga bazuula ebiwandiiko ebikwata ku ttaka ly’amakanisa gaabwe okusobola okuliwonya ababbi.

Ono  asinzidde wano n'akubiriza abakyala okwongera amaanyi mu kwekulaakulanya nga bayita mu pulogulaamu za gavumenti omuli Parish Development Model PDM ne one arca model n’endala.

Omukolo guno gwatandise n’okusaba giyite liturgy eyakulembedwamu Ssabasuba w’enzikiriza y’Abasoodokisi mu ggwanga   Jeronymos Muzeyi n’abakyala bonna ab’egattira mu mukago ogutaba enzikiriza essatu zinnangwa wansi w’ekibiina ekizigatta ki Uganda Joint Christian Council UJCC.

Metropolitan Muzeeyi ng'ali wamu n'abakyala basala cake

Metropolitan Muzeeyi ng'ali wamu n'abakyala basala cake

Enzikiriza zino kuliko  Abasodookisi, Abakulisitaayo wamu n’abakatoliki era nga okusaba kuno okwabuli  mwaka kwetooloolera  mu masinzizo gaabwe okuli St Nicholaos e Namungoona, Lutikko e Namirembe wanu Lubaga.

 Mu bubaka bwe ng’ abuulira Sabasumba Muzeyi asinzide wano nakubiriza abakiriza kufuba okulaba nga benenya ebibi n’okulongoosa empisa zaabwe.

Ku mukolo guno Obwakabaka bwa Buganda  bukiikiridwa ow’ekitiibwa Cotilda  Nakatte Kikomeko minisita avunanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu mu Buganda ono mu kwogera kwe akubiriza abakyala okuteeka omutindo ku bye babye bakola ng’abakyala kiyambe okunyweza amaka nokwekulakulanya.

Abakulembeze b’abakyala munzikiriza ezenjawulo mukusaba kuno bakubiriza bakyala bannabwe okufayo ennyo ku makagabwe kubanga gasemberedde okusaanawo songa buvunaanyizibwa bwabwe ng aba maama.