ABABBI abatambulira ku bodabooda balondodde omukazi abadde yakaaggya obukadde 21 mu bbanka ne bamukwakkulako ensawo badduke kyokka poliisi n’etaayizaako omu n’emukwata

Ssente ezaabadde mu nsawo Wagaba ze yanyakudde.
Bino byabaddewo ggulo ku Lwokutaano e Najeera omukyala Deborah Nakawombe bwe yagenze mu bbanka e Ntinda n’aggyayo ssente obukadde 21 n’apangisa bodabooda okumutwala wabula ababbi nabo ne bamugoberera n’ekigendererwa eky’okuzimubbako.
Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Nakawombe bwe yavude e Ntinda yayolekedde e Buwaate gy’asula kyokka yabadde atuuka e Najjeera ne wabaawo bodaboda okwabadde abantu babiri ne batukako ku misinde emiyitirivu gwe babadde baweese n’amusikambulako ensawo.

Wagaba gwe baakutte n'ensawo.
Yagambye nti ababi bano tebaabaddemu yadde okutya kuba Nakwombe bamusikambuddeko ensawo e okumpi n’essundiro ly’amafuta eritali wala ne poliisi era nga yamuviiriddeko okukuba enduulu abaserikale ne basitukiramu.
Yategeezezza ni abaserikale baataayizza ababbi bano ne bakwata Hussein Wagaba 27, abaeera e Kayunga mu Wakiso ng’ono ye yakwakkudde ensawo omwabadde ssente okuva ku Nakawombe wabula eyabadde avuga nadduka nga yakozesezza akakisa nti oluguudo lwabaddeko ebidduka bingi nga abaserikale tebasobola kufulumya masasi.
Yagambye nti waliwo obubinja bw’ababbi obuteega abantu wabweru wa bbanka ssaako obulondoola abatambula ne ssente enyingi nga akabinja akalondoola omusajja ke kamubbako ensawo omwali ssente mu ppaaka ya ggwanda mu Kisenyi.
Yalabudde abantu okusooka okwekenneenya embeera wamu n’abantu be balaba wabweru wa bbanka kuba abamu ku bo babeera babbi nga abo abaabadde banyakudde ensawo ku Nakawombe.