Amawulire

ABANTU abawera Mukaaga, be bakwatiddwa mu Greater Bushenyi ne Ishaka ku misango gy'okubbisa emmundu,

ABANTU abawera Mukaaga, be bakwatiddwa mu Greater Bushenyi ne Ishaka, ku misango gy'okubbisa emmundu, okweyambisa ebijambiya n'okutta ente ezisoba mu 50 mu mwezi oguwedde.

ABANTU abawera Mukaaga, be bakwatiddwa mu Greater Bushenyi ne Ishaka ku misango gy'okubbisa emmundu,
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU abawera Mukaaga, be bakwatiddwa mu Greater Bushenyi ne Ishaka, ku misango gy'okubbisa emmundu, okweyambisa ebijambiya n'okutta ente ezisoba mu 50 mu mwezi oguwedde.

Emisango gy'okubbisa eryanyi , emisango 12 gyaloopebwa nga muno mulimu egy'okubbisa  emmundu mukaaga , n'okubbisa ebijambiya , amayinja n'emiggo nagyo gyali Mukaaga.

Abamu ku baakwatibwa, kuliko Ramanthan Kankiriho ngabadde yeyita Samuel, eyagibwa e Katooma cell ku misango esatu, n'abalala okuli Ramanthan Sekajja amanyiddwa nga Kyojo , Eriad Byampiika amanyiddwa nga Boize wamu ne Rashid Basajja.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Apollo Tayebwa, ategeezezza nti okuva abantu bano lwe bakwatibwa, emisango gy'okubbisa emmundu, gyakendeerera ddala.

Agasseeko nti era baakwata Gordon Turyasingura ne Damalie Nuwagaba omukozi mu woteeri  ku byekuusa ku kutemaatema ente z'abatuuze 53 ne bazitta n'okuzitusaako ebisago.

Asabye abantu okwongera okukolaganira awamu ne poliisi mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu kitundu n'agattako nti bano baatwaliddwa mu kkooti okuwerennemba n'emisang