Amawulire

POLIISI yeweze okufeffetta abazzi b'emisango mu buli kanyomero

POLIISI yeweze okufeffetta abazzi b'emisango mu buli kanyomero

POLIISI yeweze okufeffetta abazzi b'emisango mu buli kanyomero
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI yeweze okufeffetta abazzi b'emisango mu buli kanyomero, okulaba ng'obumenyi bw'amateeka , bukendeerera ddala.

Mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro ekikeesezza leero, mu zooni ya Kevina e Nsambya e Kabalagala,  Kakuuta e Namataba Mukono, Kyebando okumpi ne Premax Hotel ,  Kisalosalo e Kyebando, Nkuram rd ne Ntebe traffic lights mu Kampala, wamu ne ku bitaala bya Luzira - portbell rd, bayodde  39.

Mu byebabasanze nabyo, mulimu enjaga eyobusigo, ey'obukoola , ebigmbibwa okuba ebibbe , obusawo n'amasimu n'ebirala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti, bakyaffeffetta abalala.