Amawulire

Kabaka asiimye Nnaalinya Nabaloga okusimbula abaddusi

SSABASAJJA Kabaka asiimye n'alonda Nnaalinya Agnes Nabaloga okusimbula abaddusi b'emisinde gy'amazaalibwa ge age 69 eginabeerawo olunaku lw'enkya mu Lubiri e Mmengo.

Katikkiro Mayiga ng'annyonnyola bannamawulire
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

SSABASAJJA Kabaka asiimye n'alonda Nnaalinya Agnes Nabaloga okusimbula abaddusi b'emisinde gy'amazaalibwa ge age 69 eginabeerawo olunaku lw'enkya mu Lubiri e Mmengo.

Ekirangiriro kino kikoleddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga e Bulange-Mmengo olw'eggulo lwa Leero . Mayiga agambye nti Kabaka yafuluma eggwanga nga March 21,2024 okugenda e Bulaaya okulaba abasawo be