Agambibwa okubeera owa ADF akubiddwa amasasi agamuttiddewo

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde
May 09, 2024

AGAMBIBWA okuba omuyeekera wa ADF omu akubiddwa amasasi agamusse n'abalala ne basuuzibwa eby'okulwanyisa ebiwerako mu kulwanagana e Congo.

Bino bibadde mu kitundu kya Masizi , km 10 okuva e Northwest Boga mu province ya Ituri e Congo , amagye agali mu section 2  agaduumirwa Col Jackson Kayanja , bwe gakubye  Omuyeekera omu amasasi agamusse.

Mu kikwekweto kya operation Shujaa, ekikolebwa amagye ga UPDF nga bali wamu n'amagye g'e Congo, abayeekera bazze battibwa n'okuwambibwa omuli n'okununula abantu abaali bawambibwa nga kuno kwossa okuzuula eby'okulwanyisa okuva mu bibira.

Omwogezi w'ekibinja ky'amagye ekyomunsozi Maj Bilal Katamba, agambye nti omuyiggo gw'abalala gukolebwa.

Mu kusooka Maj Katamba annyonnyodde nga bwe baliko eby'okulwanyisa ebiwerako bye bazudde okuva okumpi n'olutindo lw'omugga Taliha mu North Kivu Province e Congo.

Mu bye bazuudde, mulimu RPG, amasasi g'emmundu y'ekika kya PKM, amasasi g'emmundu SMG  n'ebirala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});