Minisita alagidde Paasita eyasaaye emmere y’abatuuze akwatibwe

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
May 09, 2024

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja alagidde Nabbi Jeremiah Ssebakijje ow’ekkanisa ya World Answers International e Masajja akwatibwe ku bigambibwa nti yeenyigidde mu kutulugunya abantu n’okubasaayira ebireme byabwe.
Mayanja yasinzidde Busaawula e Seguku - Katale gye yagenze okutaasa embeera oluvannyuma lw’okufuna lipoota ku paasita ono agambibwa okufuukira abatuuze ekizibu.
Joseph Lukyamuzi owa ffamire y’omugenzi Christopher Kaweesi alumiriza nti be bannannyini ttaka Ssebakijje lye yeesimbyemu, y’omu ku beemulugunyizza eri minisita.
Etakka lino liweza yiika 5. Ssebakijje agamba nti yaligula era liri ku block 37 plot 118. Kyokka ffamire ya Kaweesi, ekyapa ekyabwe kiraga nti liri ku block 377 plot 295.
Kigambibwa nti Ssebakijje, yaleese bakanyama ne basaawa ebirime bya Lukyamuzi omwabadde; olusuku, kasooli ne kalittunsi.
Minisita Mayanja yagambye nti ebiwandiiko bya Ssebakijje byogera ku kifo kirala so si ekyo okuli abantu be yasaayidde ebirime.
Lukyamuzi yattottoledde minisita ebyabaddewo n’ategeeza nti, yasoose kukwatibwa abaakakiiko ka Brig. Gen. Lukyamuzi ne bamusiba, ate enkeera Sssebakijje n’aleeta bakanyama ne basaawa ennimiro ye.
Yannyonnyodde nti ekibanja kye yakigabana ku kitaawe omugenzi Christopher Kaweesi era awo waakulidde, bazadde be we baaziikibwa kwe kwebuuza Ssebakijje gy’aggya obuyinza okumugobaganya.
Minisita Mayanja yalagidde RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi okuyamba ku bantu bano okukola sitetimenti. Yamusabye okukwatagana n’abakulu mu magye okunoonyereza ku Brig. Gen. Lukyamuzi agambibwa okuyambako Ssebakijje okutulugunya abantu.
RDC Mbabazi yategeezezza nti yafuna okwemulugunya okuva eri Ssebakijje nti waliwo abamutawaanya ku ttaka lye kyokka yagenze okuddamu okuwulira nti asaaye ebirime by’abatuuze

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});