Poliisi eyongedde ku bungi bw'embwa zaayo okuyambako ku bamenyi b'amateeka

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde
May 11, 2024

POLIISI eyongedde okunyweza obuweereza bw'embwa mu disitulikiti endala 13 , okuva ku ezo 91 ezibadde zirina.

Mu kiseera kino  disitulikiti za poliisi 104 mwe muli obuweereza bw'embwa era ng'omwaka guno wegunaggwerako ng'ekitongole kirina embwa 300.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza nti mu kiseera kino, embwa emu okuva ebweru, egulibwa ensimbi eziri mu bukadde 60 buli emu. Agasseeko nti balina embwa 240 nga bagenda kugattako endala 60 ziwere e 300.

Enanga yannyonnyodde nti naye okuva lwe baatandika okuzaaza embwa zino n'okuzitendekera e Naggalama, basobodde okutaasa ensimbi ezaalibadde zigula embwa zino okuva e bweru nga kati, bazizaasiza n'okuzitendekera munda mu ggwanga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});