Amawulire

Bakutte ababaka 3 ku by’enguzi

OLUTALO Pulezidenti Museveni lwe yalangiridde ku nguzi eri mu Palamenti lutandikidde mu ggiya, poliisi bw’ekutte ababaka basatu n’ebaggalira nga bw’egenda mu maaso n’okubanoonyerezaako ku bigambibwa nti beenyigira mu buli bw’enguzi mu Palamenti wakati mu kukola Bajeti.

Ababaka abaakwatiddwa ku nguzi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OLUTALO Pulezidenti Museveni lwe yalangiridde ku nguzi eri mu Palamenti lutandikidde mu ggiya, poliisi bw’ekutte ababaka basatu n’ebaggalira nga bw’egenda mu maaso n’okubanoonyerezaako ku bigambibwa nti beenyigira mu buli bw’enguzi mu Palamenti wakati mu kukola Bajeti.
Ababaka bano kuliko Cissy Namujju (Mukazi/Lwengo) amyuka ssentebe w’akakiiko k’ebyamateeka mu Palamenti Yusuf Mutembuli (Bunyole East) ne Paul Akamba (Busiki County), nga bano eggulo baasiibye ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli, nga babakunya era obudde bwe bwazibye ne babatwala ku Poliisi ya Kira Division gye baasuze.
Ensonda e Kibuli zaategeezezza nti eno ntandikwa mu kunoonyereza okugazi kwe baatandiseeko, nga baakwongera okuyita ababaka ba Palamenti abalala, naddala abakulira obukiiko obw’enkizo mu Palamenti.
Pulezidenti Museveni ensonda zigamba nti yalagidde ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okunoonyereza ku nguzi n’omulyo gw’ensimbi z’omuwi w’omusolo ogususse mu Palamenti, oluvannyuma lw’okwogera kwe eri eggwanga ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.
Museveni yagambye nti bulijjo anoonya obujulizi ku nguzi eno naye nga tabufunanga, naye kati bwonna yabufunye, era n’abuuza ababaka abaabadde e Kololo oba be yazudde nga beenyigira mu bubbi buno abasonyiwe, naye ababaka ne bakigaana, n’asuubiza nti kati balinde kulaba musaayi.
Museveni yagambye nti yakizuula ng’ababaka ba Palamenti bakwatagana n’abakozi mu minisitule y’ebyensimbi, ne babaako ebitongole bye bawa ssente mu Bajeti, era olumala okuzibiwa ng’omwaka gw’ebyensimbi gutandise, ng’ababaka n’abakungu ba minisitule bagenda baziggyayo nga bazeekomya!
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga eggulo yasinzidde mu lukuhhaana lwa bannamawulire e Naggulu ku kitebe kya Poliisi, n’agamba nti Poliisi gy’ayogerera tesobola kukakasa bigambibwa nti ababaka bano baayitiddwa e Kibuli, n’agamba nti bwe kinaabaawo bajja kuba bategeeza eggwanga mu butongole.
Wabula eggulo waabaddewo akasattiro n’okwetala okw’amaanyi ku Palamenti, ng’ababaka batuula obufoofofo oluvannyuma lw’okukitegeera nti bannaabwe bayitiddwa ku poliisi babeeko bye bannyonnyola.
Bino we bijjidde, ng’eggwanga liri mu kugulumba n’ensonga z’akasiimo akaaweebwa eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga, ne bakamisona ba NRM bana, okuli Esther Afoyocan, Solomon Silwany ne Prossy Mbabazi Akampulira.
Bano baagabana akawumbi kamu n’obukadde 700, nga beesiima olw’emirimu emirungi gye bakoze, ekintu ekiwakanyiziddwa abantu