Amawulire

Abalamuzi abatayimirira ku mazima basabiddwa okuzuukira wamu ne Yesu

Rev.Semei yategeezezza nti abalamuzi abamu bakubirwa obusimu ne bakyusa entambuza y’emisango n’akinogaanya nti amazuukira gano gagwanidde okuggulawo essuula empya ey’amazima n’obwenkanya nga bakulembeza okwagala nga Katonda bwe yayagala ensi.

Abalamuzi abatayimirira ku mazima basabiddwa okuzuukira wamu ne Yesu
By: Steven Kiragga, Journalists @New Vision

Omusumba w’e Nabweru Rev.Semei Ssekiziyivu ye yakulembeddemu okusaba kwa paasika ku St. Luke Nabweru eggulo n’acoomera abantu naddala abalamuzi abatayimirira ku mazima ne bakola okusalawo okunyigiriza abantu n’asaba bazuukire wamu ne Yesu.

Abamu ku Bakristu abaabadde mu mmisa ya Paasika

Abamu ku Bakristu abaabadde mu mmisa ya Paasika

Rev.Semei yategeezezza nti abalamuzi abamu bakubirwa obusimu ne bakyusa entambuza y’emisango n’akinogaanya nti amazuukira gano gagwanidde okuggulawo essuula empya ey’amazima n’obwenkanya nga bakulembeza okwagala nga Katonda bwe yayagala ensi.

Zambaali ng'awayaamu n'omukubiriza w'Obusumba bwe Nabweru mu kusaba kwa paasika ku St.Luke Nabweru

Zambaali ng'awayaamu n'omukubiriza w'Obusumba bwe Nabweru mu kusaba kwa paasika ku St.Luke Nabweru

Ye omubaka wa munisipaali y’e Nansana omulonde, Zambaali Bulasio Mukasa yasinzidde wano n’akoowoola abantu okujjumbira emisinde gya mazaalibwa ga Kabaka bw'atyo n’ajjukiza abantu okwekebeza nga bukyali era abazuulwamu akawuka batandike eddagala bafune obulamu obweyagaza.

Tags:
Amawulire
Kuzuukira
Yesu
Balamuzi
Mazima