Omuserikale wa poliisi akiguddeko, omusibe gw'abadde akwata bw'abuuse n'amulumako okutu kwe okwakkono, wakati mu kanyoolagano.
Bibadde mu kikwekweto ekikoleddwa e Idudi A, B ne C mu disitulikiti y'e Bugweri, Jamada Mulondo gy'agambibwa okuba nti abadde n'ejjambiya, mu kugimuggyako, nti kwe kuluma okutu kwa ASP Robery Nagolo OC w'e Bugweri.
Oluvannyuma, akwatiddwa ne bamuggulako ogw'okugezaako okutta omuntu. Abalala babiri okuli Salim Kaziba ne Twaili Were nabo bakwatiddwa ku bigambibwa nti babasanze basinda omukwano n'abaana abawala abali mu myaka 13 ne 17.
Mu kikwekweto kino, abantu 18 abagambibwa okweyita aba Fangone Forest ne Gaza, bayooleddwa n'ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe omuli ttivvi, amasimu, bendera ya Fangone n'ebirala.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti, bano be bamu ku bagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze mu ku babba.