Amawulire

Mukozese bulungi omutimbagano - Ssaabalabirizi Kazimba

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu alabudde abayizi ku nkozesa ey’omutimbagano nga sainga tebagikozesa bulungi byebakolerako biyinza okubalemesa okuyambibwa naddala ng’abalina okubayamba beebo bennyini bebanyiiza nga basinziira ku mutimbaga

Mukozese bulungi omutimbagano - Ssaabalabirizi Kazimba
By: Sauyah Namwanje, Journalists @New Vision

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu alabudde abayizi ku nkozesa ey’omutimbagano nga sainga tebagikozesa bulungi byebakolerako biyinza okubalemesa okuyambibwa naddala ng’abalina okubayamba beebo bennyini bebanyiiza nga basinziira ku mutimbagano.

 

Yasinzidde mu kusaba kw’okwebaza okwategekeddwa ab’essomero lya Lubiri S.S mwe beebalizza Katonda olw’obuwanguzi abayizia baayitira waggulu mu bigezo by’akamalurizo omwaka oguwedde. Omukolo gwabaddemu bussabadinkoni bw’e Nateete.

 

Yagambye nti omutimbagano mulungi nnyo naye bw’ogukozesa obubi osobola okuva ku mulamwa. Ku lutalo oluli emitala w’amayanja, Kaziimba yasabye abantu bulijjo okuyiga okwogerazaganya okusinga okulwanagana okwewala okuyiwa omusaayi era n’asaba mu nnaku entukuvu ze tulimu okwewala ebikolwa ebitalaga nsonga ku lwaki Yesu yabafiiririra.

 

Akulira essomero lino Agatha Nakisekka Ssenyonjo annyonnyodde obukulu bw’okwebaza kuno era n’akubiriza abayizi okusigala nga beeyisa bulungi okuyiga bwe babeera mu bantu bannaabwe. AbaasukKuluma ku balala mu bigezo bya siniya eyookuna n’eyoomukaaga baasimiddwa n’amabaluwa awamu n’ebirabo.