OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa avumiridde ettemu, entalo, endwadde n'obwavu ebimakako abantu emirembe ne bibafuukira entaana n'asaba Abakristu okwekwasa Katonda asobole okubawanguza ebizibu bino.

Abamu ku Bakristu abaabadde mu Mmisa
Asinzidde mu kusaba kwa paasika ku kleziya e Kasana n'agamba nti Kristu okuzuukira awangudde entaana n'abalabe abaamukudaalira ne bejjusa ne bakakasa nti ddala mwana wa Katonda.
Asabye abantu okusonyiwa ababakola obubi n'abalamuzi obutakulembeza kya kusabira musango abakozi b'ebibi kuba bakyayinza okweddako ng'abaakomerera Yesu bwe baakola.
Omusumba Mukasa ategeezezza nti Katonda yayagala ensi n'awaayo omwana yekka gwe yalina n'abasaba okukola by’ayagala baleme okuzikirira.
Okusaba kwetabiddwamu omubaka omukazi owa Luweero Brenda Nabukenya, omubaka wa Bamunaanika Robert Sekitooleko, owa Katikamu North Denis Sekabira, ssentebe wa disitulikiti ya Luweero Erasto Kibirango, omwami wa Ssaabasajja atwala ggombolola Mumyukansege Butuntumula John Kibalama n'abalala.