Ssaabasumba Ssemogerere akubirizza abafumbo
Jun 03, 2024
SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubirizza abafumbo bulijjo okusonyiwagananga n’okwekwata ku Katonda naddala nga bafunye ebibasoomooza. Obubaka buno yabutisse, Msgr. Gerald Kalumba bw’abadde

NewVision Reporter
@NewVision
SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubirizza abafumbo bulijjo okusonyiwagananga n’okwekwata ku Katonda naddala nga bafunye ebibasoomooza. Obubaka buno yabutisse, Msgr. Gerald Kalumba bw’abadde akulembeddemu Mmisa ku kigo ky’e Nabbingo ey’okujaguza emyaka 82 bukya kitandikibwaawo.
Ssaabasumba yategeezezza nti ebiseera bingi abafumbo bafuna ebisoomoozo omuli n’obutabanguko mu maka ky’agambye nti kikoze kinene okwonoona ekitiibwa ky’amaka bwatyo n’akuutira abafumbo okunywerera ku Mukama mu buli mbeera. Ku mukolo guno, MSGR Kalumba yagattiddeko gy’abagole 7 n’okuwa abaana abaasobye mu 800 kofirimansiyo. Yakuutidde abazadde okukuliza abaana mu ddiini. John Matovu,
ssaabakristu w’e Kigo kino yasiimye Abakristu ababayambye ennyo okukulaakulanya
ekigo kino era n’abasaba okwongera okutambulira awamu Nabbingo esobole okudda ku
ntikko. Bannabyabufuzi abenjawulo omubadde omubaka wa Busiro East, Medard Lubega Seggona n’omubaka omukyala owa Wakiso Betty Ethel Naluyima nabo beetabye mu kusaba kuno.
No Comment