OMUGAGGA w’omu Kampala, Christine Nabukeera awangudde omusango ogwamuwawaabirwa omusuubuzi John Kabanda nti yamenya edduuka lye n’abbamu engatto ne ssente n’amusekerera okumala obudde mu bitaliimu.
Wabula, ne Kabanda agenze awera okujulira mu kkooti enkulu bamusibe. Kyaddiridde Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Sanula Namboozo okwejjeereza Nabukeera ne Mutabani we Vicent Mawanda ababadde bavunaanibwa okuyingira mu dduuka lya Kabanda ne babbamu ebintu ebikunukkiriza mu bukadde 500.
Vicente Mawanda mu kaguli ka kkooti nga awuliriza ensala y'omulamuzi.
Omusango guno gw'aloopebwa omusuubuzi Kabanda ng’agamba nti yali apangisa ku kizimbe kya Nabukeera ekya Nana Center edduuka D21.
Alumiriza nti mu biseera by'omuggalo gwa 2020 Nabukeera yajja ne mutabani we Vicent Mawanda ne bamenya edduuka lye ne babbamu ebisawo by'engatto 43 ebibalirwamu ssente obukadde 350, ssente enkalu obukadde 172 ddoola 125,000 n'ebiwandiiko bya bizinensi byonna ng’amulumiriza nti yali akunga abapangisa obutasasula ssente z'obupangisa egy'emyezi gye baamala nga tebakola mu 2020 mu kiseera ky'omuggalo.
Mu nsala y’omulamuzi, yategeezezza nti talabangako ludda luwaabi nga lukulembeddwa Allan Muchunguzi okulemererwa okukakasa kkooti n’obujulizi bwe yagambye nti bwali kibulamu nnyo obutasobola kuluma bawawaabirwa.
Kabanda ng'awuliriza ensala y'omulamuzi.
Yategeezezza nti Kabanda mu bujulizi bwe, yategeeeza kkooti nti yalina Sacco y’abasuubuzi 40, abaasondanga ssente ddools 216 okumala emyezi 12, kyokka nga ssente z’agamba okubbibwa mu dduuka ntono ku ezo z’agamba.
Ku ssente ezigambibwa okubbibwa obukadde 175 mu dduuka nga limenyeddwa, omulamuzi yagambye nti tekisoboka kubeera kuba w’agambira nti zabbibwa kyali kiseera kya muggalo ng’abasuubuzi tebakola.
Ono era yayongedde okwetegereza obujulizi obwaleetebwa nga bagamba nti edduuka lyamenyebwa nga July 28, 2020 ebintu byonna ne bibbibwa kyokka abamu ku bajulizi abalala baategeeza kkooti nti ebintu byatwalibwa emirundi esatu okwali olwo, October 8 ne 9, 2020.
Yeebuzizza nti bintu ki bye baatwala mu nnaku ezaddirira kyokka nga ku gwasooka byonna byali bitwaliddwa. Yagambye nti n’engatto ezigambibwa okubbibwa, tewaaliwo lisiiti zaali ziraga nti yali asuubudde.
Yasinzidde ku ebyo n’ategeeza nti oludda oluwaabi lwalemeddwa okumatiza kkooti era ne yejjeereza Nabukeera ne mutabani we.
Kabanda yategeezezza nga bw’atagenda kupowa kuba kkooti tesaze mazima era n’awera okwengezaayo omusango mu kkooti ejulirwamu okutuusa nga afunye amazima.