ABAAGALA okuvuganya ku bwapulezidenti batandikidde mu maanyi 51, bajeeyo empapula z’okunoonya emikono ku lunaku olusooka 48 ku 51 tebalina bibiina.
Amyuka omwogezi w’akakiiko k’eby’okulonda, Paul Bukenya yategeezezza nti okugyayo empapula z’okunoonya emikono kwa bwereere n’akubiriza abazitutte okutandikirawo okunoonya emikono gino basobole okuzizaayo mu budde akakiiko kasobole okuzekenneenya.
Katumba oyee agamba nti mweteefuteefu nnyo.
Agambye nti omuntu yenna okuvuganya ku bwapulezidenti alina okubeera munnayuganda, omulonzi,ng’ali waggulu w’emyaka 18, alina obuyigirize obutakka wansi wa S.6 ssaako okubeera n’emikono 100 egy’abalonzi abamusemba okuva mu disitulikiti ezitakka wansi 98 ku 146, bye bitundu 2/3.
Bukenya ategeezezza nti omuntu okwewandiisa wansi w’ekibiina ky’ebyobufuzi kyonna alina okusooka okufuna ebbaluwa okuva ewa ssabawandisi w’ekibiina kye.
Akatwijuka.
Abanaaba bayise mu kasengejja k’okunoonya emikono baakusasula obukadde 20 ez’okwesimbawo ku kifo kino nga zino teziddizibwa muntu olwo akakiiko kabawe ennaku ez’okwewandisizaako.
Abanaaba basunsuddwa baakuweebwa abakuumi n’ebintu ebirala ebinaabayamba mu kukuba kkampeyini.
Mivule
Ku bantu 50 abaggyeeyo empapula, okunoonya emikono abasinga bavubuka abali wakati w’emyaka 24 ne 35, nga bano bagamba nti beesowoddeyo okukola ku bizibu ebinyigiriza abavubuka naddala eky’ebula ly’emirimu.
Nankambwe
Ku bano kuliko n’abayizi okuva mu matendekero ag’enjawulo okuli Alvin Mivule 25, owa Victoria University, Pauline Nankambwe24, Uganda Christian University, Wilcom Kasaij Kiiza owa Kampala International University, munnamawulire Ivan Kisaakye, omusuubuzi Ibrahim Kiggundu 38.
Mu balala kuliko John Katumba eyavuganyaako mu kalulu ka 2021, Kassim Male Bbale, Sam Kooja 25,, Stuart Akatwijuka 30, Micheal Kidega 31, Rogers Lubowa 37, Francis Mawejje 30 omuvuzi wa boda boda, Godfrey Busiku 41, Edward Niyonziam 54, David William Magezi 26, Moses Mayanja 39, Asuman Mugwa, Joyce Catherine Nambwere, Yoweri Ssekimpi41, Joshua Isingoma Mugisha n’abalala.
Mawejje owa bbooda naye agamba amazeeko ajja.
Abalina ebibiina kuliko Elton Joseph Mabirizi owa Conservative Party ng’ono yawerekeddwako pulezidenti w’ekibiina John Kenny Lukyamuzi, Joseph Kiiza Kabuleta owa NEED ne Charles Kafeero Mutaasa owa Revolutionary People’s Party.