AKULIRA ekitongole kya Vision Group, Don Innocent Wanyama yeeyamye okuyamba ku Bulabirizi bw’e Mukono okuzimba lutikko y’e Ssaza esuubirwa okutuuza abakkiriza abasoba mu 5,000 nga yaakuwemmenta ezisoba mu buwumbi mwenda.
Mu lukiiko olwabadde ku kitebe kya Vision Group ng’Omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano Bishop Enos Kitto Kagodo akyaliddeko Don Wanyama mu woofisi ye ne bannaddiini abalala okuva ku ssaza, baamusabye okubakwatizaako ku nsonga eno.
Mu bubaka obwaweereddwa Bishop Kagodo, yategeezezza bukya alondobwe ku Bulabiriza abadde tasisinkanangako akulira Vision Group Wanyama, kyokka ng’emikutu gy’amawulire gy’akulembera gyakola kinene okubunyisa enjiri y’okumulonda n’okumutuuza n’amwebaza mu kino.
Omubirizi we Mukono ng'ali mu office za Vision Group
Yamusabye okubayamba ku kuzimba lutikko nga bayita mu kubakwatirako okubunyisa amawulire g’okusonda ssente wamu n’okubakwatizaako ne ssente enkalu.
Omulabirizi era yamutegeezezza nti Obulabirizi butegese emisinde n’olusiisira lw’ebyobulamu ebinaabaayo nga October 4, 2025 ku ssaza bye basuubira okuggyamu obukadde obusoba mu 600 n’amusaba okubayambako okubunyisa amawulire gano era n’amuyita n’okwetaba mu misinde gino.
Bishop Kagodo yagambye nti baafunye obubaka bwa Katonda nga baagala okumuzimbira ennyumba empya era nti baagala okugimaliriza mu kiseera kya myaka ebiri nga basuubira Ssaabalabirizi Kazimba Mugaru okugitongoza era bagimukwase ng’ekirabo ky’okuwummula.
Akulira eby’okukunga mu Bulabirizi bw’e Mukono, Rev. Abel Sserwanja Merewooma, yategeezezza nti lutikko eno ebaddewo emyaka egisoba mu 100 kati baagala okussaawo empya ey’omulembe ate ey’ekijjukizo era ng’emu ku nkola ze bagenda okuyitamu okunoonya ssente bye bijjulo bye batega, emisinde n’ebirala.
Yagambye nti balina n’enkola y’Omukrisitaayo ey’okusonda emitwalo ebiri buli lunaku nga balina essuubi ly’okumala okugizimba mu kiseera kya myaka ebiri n’awanjagira buli alina ky’alina akitoole okumaliriza ennyumba ya Katonda.
Omulabirizi we Mukono ng'asabira akulira Vision Group Don Wanyama
Akulira Vision Group Don Innocent Wanyama, mu kwanukula yabategeezezza nti balina ekirowoozo kirungi era n’abasuubiza okubakwatirako mu mbeera yonna kuba bazze bakwatira ku bitongole bingi nga tebasobola kulekerera kuzimba nnyumba ya Katonda.
Yabeebazizza olw’okubasuulira omwoyo ate ne bajja okubeebaza olw’okubayamba ku by’okutuuzibwa kw’Omulabirizi n’agamba nti buli lwe bafuna okuddibwamu okulungi nga kuno nabo bafuna essanyu ate okwongera okuteeka ettofaali ku kuzimba ennyumba ya Katonda.
Nga Vision Group, tweyamye okukolagana n’obulabirizi bw’e Mukono mu nteekateeka eno” Wanyama bwe yagambye.
Yakwasizza eddimu akulira Bukedde ffamma Ronald Ssebutiko okukwasaganya Obulabirizi n’ekitongole kya Vision Group ekikola ku by’okulanga okulaba nga batema empenda butya kino bwe kigenda okuddukanyizibwa era Ssebutiko n’asuubiza okubikolako mu budde.
Wanyama yawadde ekisuubizo nti naye waakwetaba mu misinde eginaabaayo nga October 4, 2025 era n’abamu ku bakozi baakujja. Don era yasabye omulabirizi okufunayo akadde okujja ku kitebe abasabire Omulabirizi kye yakkirizza