EBYENTAMBULA ku luguddo oluva e Nansana okudda e Hoima bisannyaladde nga bannakibiina kya NRM abeegwanyiza okukwatira NRM bendera ku bifo eby’enjawulo mu diviizoni y’e Nansana bazzaayo empapula ku kitebe kyabwe e Wakiso.
Ebyentambula Nga Bisannyaladde E Nansana
Bano abaakulembeddwa Sam Mugabi Bukenya eyaliko amyuka ssentebe wa diviizoni y’e Nansana era yaweereddwa bendera ya NRM avuganye ku bwa ssentebe bwa divizoni y’e Nansana.
Basannyalazza emirimu ku siteegi ez’enjawulo okuli masitoowa, yesu amala,k abumbi, kazo n’awalala nga bayisa ebivvulu wakati mu kibinja kya bavubuka obwedda abeerippye ku mmotoka ekivuddeko akalippagano k’ebidduka mu kitundu kino.
Sam Mugabi oluzizzaayo empapula kwe kuwanjagira abatuuze b’e Nansana okumwesiga era baleme kutunuulira kibiina kya muntu wabula obusobozi bw’alina mu kuweereza abatuuze.
Sam Mugabi Wakati Na Ba Nrm E Wakiso
Ye Emmanuel ssengendo ayagala okukiikirira omuluka gwa Nansana west ku division e Nansana ategeezezza nga NRM bwe yeeteseteese obulungi nga bakwanganga omuyaga okwazigamya obuweereza.
Ate Faridah musoke, naye azizzaayo empapula aweze nga bwe bagenda okweyongera okuba obumu okulaba nga NRM eddamu okwezza ebifo by’obukulembeze.
Wabula embeera eno yalese abeebibiina by’obufuzi ebivuganya gavumenti nga bakiise ensingo nga bagamba nti poliisi n’ebitongole by’okwerinda batiitiibya NRM ate abalala ne bakijjanyizibwa.